18
bikira mu kirooto, ng’agamba nti, “Yusufu, omwana wa Dawu- di, totya kutwala mukyala wo Malyamu, kubanga olubuto lw’alina lwa Mwoyo Mutukuvu. 21 Era alizaala omwana ow’obule- nzi, naawe olimutuuma erinnya lye YESU, kubanga oyo y’alilo- kola abantu be mu bibi byabwe.” 22 Naye ebyo byonna byaaliwo obunabbi butuukirire obwayo- gerwa nti: 23 “Laba omuwala ata- manyi musajja alibeera olubuto, era alizaala omwana ow’obule- nzi, era aliyitibwa erinnya lye Emanuweri,” ekitegeeza nti “Kato- nda ali naffe.” 24 Awo Yusufu bwe yasisimuka mu tulo, n’akola nga malayika wa Mukama bwe ya- mugamba, n’atwala mukyala we, 25 era teyamumanya okutuusa ng’amaze okuzaala mutabani we omubereberye. Era yamutuuma erinnya lye YESU. Matayo 1:18-25 18 N’okuzaalibwa kwa Yesu Kristo kwali bwe kuti: Malya- mu nnyina bwe yali nga ayoge- rezebwa Yusufu, nga te-banna- ba kubeera wamu, n’asangi- bwa nga ali lubuto lwa Mwoyo Mutukuvu. 19 Awo Yusufu omwami we, nga bwe yali omusajja omutukuvu, yali nga tayagala kumuswaaza, yali a- sala amagezi kumulekayo kya- ma. 20 Naye bwe yali ng’alo- wooza ebintu ebyo, laba, ma- layika wa Mukama n’amula- ESSOMO 1.OKUZAALIBWA KWA YESU KRISTO, OMULOKOZI WAFFE Eby’okukola A. Buli kibuuzo we kikoma, waliwo akafo w’ojja okuwandiika eky’okuddamu kyo. Ekibuuzo bwe kikulema okutta, nga odda- mu nga osoma bulungi nga wetegereza. Eby’okuddamu byo- nna ojja kubisanga mu ssomo erisooka. 1. Erinnya lya maama wa Yesu ye yali ani? ____________ _______________________ (olunyiriri 18) 1 EBISOOKERWAKO Okuyiga kuno okuva mu Matayo kuwandiikiddwa eri BULI YENNA ayinza okunyumirwa mu bitonotono eby’olugero lw’enjiri ey’ekitalo. Teriiyo bubaka bwa kitalo nnyo bulala bwonna bwe tuyinza kubuulira nsi. Kisuubirwa nti abantu abetolodde ensi yonna bajja kusa- nga akatabo kano nga ka mugaso era nga kayamba oku- sobola okutegeera obulungi Ekigambo kya Katonda eki- wandiike obulungi ddala, era bangi balyoke banoonye Yesu okuba Omulokozi w’obulamu bwabwe abayambe okuva mu kibi bwe babeera nga tebanaba kukivaamu. Nsaba akatabo kano era kalung’amye buli mukkiriza yeyongere okutambuli- ra mu bulamu obusinga obulungi, obulamu obw’Ekikristaayo obwawulibwa buli lunaku, obusiimibwa Mukama Yesu Kristo, eyajja okutuwa obulamu obutaggwaawo. …………………………………………………………………… Copyright © 1963, 2005 by Mrs. Rose A. Goodman …………………………………………………………………… “SSANYU”—Okuyiga Bayibuli mu Matayo Kaakubibwa: WORLD MISSIONARY PRESS, INC. P.O. Box 120 New Paris, Indiana 46553-0120 USA ______________________________ Okuyiga Baybuli nga tusinziira ku Matayo kagabibwa buwa. Mbasaba mwetegereze kino nti TEKAGABIBWA mu missa nga babuulira, naye kaakolebwa nga kakozesebwa mu bubinja obutono nga muyiga Bayibuli, abantu kinn’omu, oba mu kukyalira abantu abakkiriza abapya. Bayibuli gye baakozesa ye ya Kabaka Yakobo Enzivuunula Empya era n’o- muvvuunuzi w’Oluganda gy’agoberedde-1979, 1980, 1982. Thomas Nelson, Inc., Publishers. Kyakozesebwa ku lukusa. Ekifaananyi ekiri ku ddiba kyaakubibwa Andrew Beverly. “Naye musooke munoonye obwakabaka bwa Katonda n'obutuukirivu bwe, n'ebirala byonna biribongerwako.” —Matayo 6:33 Ka bwereere—Tekatundibwa “Ssanyu”

A bible study on matthew luganda

Embed Size (px)

Citation preview

Page 1: A bible study on matthew luganda

bikira mu kirooto, ng’agambanti, “Yusufu, omwana wa Dawu-di, totya kutwala mukyala woMalyamu, kubanga olubutolw’alina lwa Mwoyo Mutukuvu.21Era alizaala omwana ow’obule-nzi, naawe olimutuuma erinnyalye YESU, kubanga oyo y’alilo-kola abantu be mu bibi byabwe.”22Naye ebyo byonna byaaliwoobunabbi butuukirire obwayo-gerwa nti: 23“Laba omuwala ata-manyi musajja alibeera olubuto,era alizaala omwana ow’obule-nzi, era aliyitibwa erinnya lyeEmanuweri,” ekitegeeza nti “Kato-nda ali naffe.” 24Awo Yusufu bweyasisimuka mu tulo, n’akola ngamalayika wa Mukama bwe ya-mugamba, n’atwala mukyala we,25era teyamumanya okutuusang’amaze okuzaala mutabani weomubereberye. Era yamutuumaerinnya lye YESU.

Matayo 1:18-2518N’okuzaalibwa kwa Yesu

Kristo kwali bwe kuti: Malya-mu nnyina bwe yali nga ayoge-rezebwa Yusufu, nga te-banna-ba kubeera wamu, n’asangi-bwa nga ali lubuto lwa MwoyoMutukuvu. 19Awo Yusufuomwami we, nga bwe yaliomusajja omutukuvu, yali ngatayagala kumuswaaza, yali a-sala amagezi kumulekayo kya-ma. 20Naye bwe yali ng’alo-wooza ebintu ebyo, laba, ma-layika wa Mukama n’amula-

ESSOMO 1.OKUZAALIBWA KWA YESU KRISTO, OMULOKOZI WAFFE

Eby’okukolaA. Buli kibuuzo we kikoma, waliwo akafo w’ojja okuwandiikaeky’okuddamu kyo. Ekibuuzo bwe kikulema okutta, nga odda-mu nga osoma bulungi nga wetegereza. Eby’okuddamu byo-nna ojja kubisanga mu ssomo erisooka.

1. Erinnya lya maama wa Yesu ye yali ani? ___________________________________ (olunyiriri 18)

1

EBISOOKERWAKOOkuyiga kuno okuva mu Matayo kuwandiikiddwa eri BULI

YENNA ayinza okunyumirwa mu bitonotono eby’olugerolw’enjiri ey’ekitalo. Teriiyo bubaka bwa kitalo nnyo bulalabwonna bwe tuyinza kubuulira nsi.

Kisuubirwa nti abantu abetolodde ensi yonna bajja kusa-nga akatabo kano nga ka mugaso era nga kayamba oku-sobola okutegeera obulungi Ekigambo kya Katonda eki-wandiike obulungi ddala, era bangi balyoke banoonye Yesuokuba Omulokozi w’obulamu bwabwe abayambe okuva mukibi bwe babeera nga tebanaba kukivaamu. Nsaba akatabokano era kalung’amye buli mukkiriza yeyongere okutambuli-ra mu bulamu obusinga obulungi, obulamu obw’Ekikristaayoobwawulibwa buli lunaku, obusiimibwa Mukama Yesu Kristo,eyajja okutuwa obulamu obutaggwaawo.……………………………………………………………………

Copyright © 1963, 2005 by Mrs. Rose A. Goodman……………………………………………………………………

“SSANYU”—Okuyiga Bayibuli mu Matayo Kaakubibwa:WORLD MISSIONARY PRESS, INC.

P.O. Box 120New Paris, Indiana 46553-0120 USA______________________________

Okuyiga Baybuli nga tusinziira ku Matayo kagabibwabuwa. Mbasaba mwetegereze kino nti TEKAGABIBWA mumissa nga babuulira, naye kaakolebwa nga kakozesebwamu bubinja obutono nga muyiga Bayibuli, abantu kinn’omu,oba mu kukyalira abantu abakkiriza abapya.

Bayibuli gye baakozesa ye ya Kabaka Yakobo Enzivuunula Empya era n’o-muvvuunuzi w’Oluganda gy’agoberedde-1979, 1980, 1982. Thomas Nelson,Inc., Publishers. Kyakozesebwa ku lukusa.

Ekifaananyi ekiri ku ddiba kyaakubibwa Andrew Beverly.

“Naye musooke munoonye obwakabakabwa Katonda n'obutuukirivu bwe, n'ebiralabyonna biribongerwako.” —Matayo 6:33

Ka bwereere—Tekatundibwa

“Ssanyu”

Page 2: A bible study on matthew luganda

2. Yesu yafuuka atya n’abeera mu lubuto lw’omuntu?____________________________ (19). Kino kitulaga ngaKatonda ye Taata wa Yesu kubanga Omwoyo Omutukuvu neKatonda bali muntu omu.

3. Ani yalabikira Yusufu mu kirooto n’amugamba nti,“Yusufu omwana wa Dawudi, totya kutwala mukyala woMalyamu, kubanga olubuto lw’alina lwa Mwoyo Mu-tukuvu”? ___________________________(20)

4. Yesu baamuwa erinnya eddala eritandika n’ennukuta E.Linnya ki? __________________ (23)

5. Erinnya Emanuweri litegeeza ki? ____________________________________________ (23)B. Yiga olunyiriri luno:

“Olimutuuma erinnya lye Yesu; kubanga oyo y’aliloko-la abantu be mu bibi byabwe.” —Matayo 1:21b

Lwaki Yesu Ayinza Okutulokola Okuva mu Bibi Byaffe

Yesu teyalina Taata wa mubiri. Omwoyo Omutukuvu yeKitaawe. Y’ensonga lwaki omusaayiGwe gwa bwakatonda era y’ensongalwaki yali asobolera ddala okufa kumusalaba olw’ebibi byaffe. Yesu yalisaddaaka etuukiridde eyaweebwayookufirira ebibi kubanga Ye teyalina kibikyonna. Yesu mutukuvu era yatuukiri-ra. Ensonga enkulu eyasinga okuleetaYesu mu nsi, kwe kutulokola okutujjamu bibi byaffe. Yajja ku nsi atulokole.

YESU ERA KATONDA —YAJJA MU NKULA EY’ABANTU

2

ekyayogera nabbi nti, “Aliyiti-bwa Munazaalayo.”

23N’ajja n’abeera mu kyalo eki-yitibwa Nazaleesi, kituukirire

Eby’okukolaA. Ebibuuzo ebyo wammanga oddamu nti YEE oba NEDDA.Eky’okuddamu kyo kiwandiike awo awali omusittale.

1. Yesu yazaalibwa mu Beserekemu eky’e Buyudaaya.__________________(1)

2. Abasajja abagezigezi emunyeenye baagiraba mu Buva-njuba. ___________ (2)

3. Kabaka Kerode bwe yawulira nga Yesu azaaliddwa ya-sanyuka. _________ (3)

4. Abasajja abagezigezi baddayo ewa Kerode ne bamub-uulira omuto Yesu gye yali. ______ (12)

5. Malayika wa Mukama yagamba Yusufu nti adduke age-nde e Misiri. _________ (13)

6. Kabaka Kerode yatta abaana abato bonna abaali ngabaweza emyaka ebiri n’okukka wansi abaali mu Bese-rekemu n’ebitundu ebiriraanyeewo? ____________ (16)

7. Yesu yabeerako mu kyalo ekiyitibwa Nazaalesi?_____________ (23)B. Awali ebbanga jjuzawo ekigambo ekibulawo nga obijja mulugero.

“Era bwe baatuuka mu nnyumba, ne balaba omwanaomuto ne _____________________ nnyina, ne bavunamane ___________________. Ne basumulula ensawo zabwene bamutonera ________: _________________, obubaane,ne_________________” (11).

5

no mu bafuga Yuda; kubangamu ggwe; mwe muliva Omu-fuzi alirunda abantu bangeYisirayeri.’” 7Awo Kerode n’a-yita basajja abo kyama, n’aba-buuza akakase ddi emunyeenyelwe baagiraba. 8N’abasiindikae Beserekemu n’abagambanti, “Mugende mufube oku-noonyereza eby’omwana oyo,era bwe mulimulaba, munte-geezanga nange ne nzijja nemusinza.” 9Bwe baawuliraebya kabaka ne basimbula;era, laba, emunyeenye gyebaalaba e Buvanjuba n’e-bakulembera, okutuusa bweyayimirira mu kifo omwanawe yali. 10Bwe baalaba emuny-eenye ne basanyuka nnyonyini. 11Era bwe baatuuka munnyumba, ne balaba omwana

Matayo 2:1-231Yesu bwe yazaalibwa mu Be-

serekemu eky’e Buyudaaya mubiro bya kabaka Kerode, laba,abagezigezi ne bava e Buva-njuba ne bajja e Yerusalemi,2nga bagamba nti, “Ali luddawa oyo eyazaalibwa Kabakaw’Abayudaaya? Kubanga twa-laba emunyeenye ye mu Buva-njuba era tuzze okumusinza.”3Kabaka Kerode bwe yabiwu-lira, ne yeraliikirira awamu neYerusalemi yonna. 4N’ayita ba-kabona abakulu bonna, aba-wandiisi, n’abantu bonna n’a-babuuza Kristo gye yazaali-bwa. 5 Ne bagamba nti, “MuBeserekemu eky’e Buyudaa-ya, kubanga kyawandiikibwaba nabbi nti: 6 ‘Naye ggwe,Beserekemu Yuda, toli muto-

3

ESSOMO 2. ABASAJJA ABAGEZIGEZIBAKYALIRA YESU

ebiri n’okukka wansi bonnaabaali mu Beserekemu oku-sinziira ku biro abagezigezi byebaamugamba. Olwo nabbi Ye-remiya bye yayogera ne bituu-kirira nti; “Ebiwoobe byawu-lirwa mu Ramma, okukaaban’okukungubaga okungi Lake-ri ng’akaba olw’abaana be, eran’agaana okukubagizibwa ku-banga nga tewakyali.” 19NayeKerode bwe yafa, laba, malayi-ka wa Mukama n’alabikiraYusufu mu kirooto ng’agambanti, “Golokoka, otwale omwanaawamu ne nnyina mu Yisira-yeri, kubanga abaali banoonyaobulamu bw’omuto, bafudde.”21Awo n’agolokoka, n’atwalaomwana ne nnyina, ne bajjamu nsi ya Yisirayeri. 22Nayebwe yawulira nga Alukerayo yeyali afuga Buyudaaya oyo eya-sikira kitaawe Kerode, n’atyaokugendayo. Era Katonda bweyamulabulira mu kirooto, n’a-kyuka n’agenda e Galiraaya.

omuto ne Malyamu nnyina; nebavunama ne bamusinza. Ne ba-sumulula ensawo zabwe ne ba-mutonera ebirabo: zaabu, obu-baane n’omugavu. 12Awo, mala-yika wa Mukama bwe yabala-bula mu kirooto baleme okudda-yo eri Kerode, ne bakwata ekku-bo eddala nga baddayo ewabwe.13Bwe baagenda, laba, malayikawa Mukama n’alabikira 14Yu-sufu mu kirooto ng’agamba nti,“Golokoka otwale omwana awa-mu ne nnyina, muddukire e Mi-siri, era mubeere eyo okutuusalwe ndi kutegeeza.” 15Era baa-beerayo okutuusa Kerode bweyafa, ekyo Mukama kye yayo-gerera mu banabbi kiryokekituukirire bwe yagamba nti,“Nayita Omwana wange okuva eMisiri.” 16Awo Kerode bwe ya-laba nga abagezigezi baamuli-mba, n’ajjula essungu; n’atumabasajja be okutta buli baana babulenzi bonna abaweza emyaka

4

Page 3: A bible study on matthew luganda

Ekiweebwayo EkyasookaEkiweebwayo ekyasooka okuweebwa Yesu abasajja aba-

gezigezi be baakireeta. Ekirabo kya zaabu kali kaboneroakalaga obwakabaka bwe. Obubaane n’omugavu byali byakaloosa eby’emiti gy’e Buvanjuba era nagyo eri abantu gyamuwendo nga zaabu. Obubaane nga bulaga embeera Yeey’obuntu (ekitegeeza nti yazaalibwa mu mubiri nga omuntu)n’okuziikibwa kwe, ate omugavu gwe gulaga obwakatondabwe. Tetwandisobodde kuwa Yesu birabo nga ebyo eby’o-muwendo omungi, naye ekirabo ekisinga kye tuyinza oku-muwa bwe bulamu bwaffe nga twewaayo gy’ali.

Abasajja Abagezigezi Baasinza Yesu

Tukiraba mu ssomo ery’okubiringa abasajja abagezigezi baasi-nza Yesu! Tebaasinza Malyamu.Ye Malyamu yazaala buzaaziYesu. Era Yesu bwe yali ng’afa kumusalaba, maama we ow’omubiriyamusigira Yokaana. Mu ssuula19 eya Yokaana, enyiriri 26 ne

27a, tusoma bino, “Awo Yesu bwe yalaba nnyina, n’o-muyigirizwa gwe yayagalanga nga bayimiridde awo,n’agamba nnyina nti, ‘Omukyala, laba mutabani wo!’ Aten’agamba omuyigirizwa oli nti, ‘Laba nnyoko!’ ” Wano tula-ba nga Yesu maama we yamuyita “Mukazi!”

Kitugwanidde okuba abegendereza ne tusinza Mukamawaffe Yesu Kristo yekka, Omulokozi waffe. Jjukira mu ssomoerisooka twasoma nti erinnya lya Yesu eddala Ye Ema-nuweri, ekitegeeza nti Katonda ali naffe! Kino kituyigiriza ntiYesu naye Katonda. Kale bwe kityo lwali lunaku lukulu lwakitalo nnyo Yesu lwe yajja ku nsi kuno nga omwana omuto

6

n’akulira mu basajja n’abakazi. Yesu Ye Katonda nga yeeragaeri abantu mu mubiri. (Soma Yokaana 1:1,14; Abakkolosaayi2:9; Matayo 12:50.)

ESSOMO 3. YOKAANA OMUBATIZAABATIZA YESU

7

mira, n’olukoba olw’eddiba mukiwato kye; yalyanga nzige namubisi gwa njuki. 5Awo ne bavae Yerusalemi ne mu Buyudaayawonna n’ensi yonna eriraanyee-wo ne bajja gy’ali 6okubabatizamu Yoludaani; nga baatula ebi-bi byabwe. 13Awo Yesu n’ava eGaliraaya n’ajja eri Yokaanamu Yoludaani amubatize. 14Na-ye Yokaana n’agezako okugaa-na ng’agamba nti, “Nze nninaekyetaago ggwe okumbatiza, ateojja gyendi?” 15 Naye Yesu n’a-ddamu ng’agamba nti, “Kikki-rize kaakano kibeere bwe kityo,kubanga kirungi ffe okutuuki-riza obutuukirivu bwonna.” A-wo n’amukkiriza. 16Awo Yesubwe yabatizibwa n’ava mu ma-zzi. Amangu ago era laba, eggu-lu ne libikkuka n’alaba Omwo-yo wa Katonda ng’akka mu ki-faananyi ky’ejjuba ne limuwu-mmulirako. 17Amangu ago eddo-boozi ne liva mu ggulu, nga liga-mba nti, “Ono Ye Mwana wangeomwagalwa, gwe nsanyukira e-nnyo.”

Matayo 3:1-6 ne 13-171Mu nnaku ezo Yokaana O-

mubatiza yajja nga abuulira muddungu ey’e Buyudaaya, 2ng’a-gamba nti, “Mwenenye, kuba-nga obwakabaka bw’eggulu bu-sembedde!” 3Kubanga ono ye ya-yogerwako nabbi Yisaaya nti:“Eddoboozi ly’oyo ayogereramu ddungu nti, ‘mulongooseekubo lya MUKAMA, mutereezeenguudo ze.’” 4Era Yokaanayayambalanga byoya bya ng’a-

Eby’okukolaMu mabanga ago jjuzamu ebigambo ebituufu. Eby’oku-

ddamu byonna bisangibwa mu ssomo ery’okusatu.1. Yokaana omubatiza yabuulira obubaka obugamba bwe buti:

“Mwenenye kubanga obwakabaka bwa _________________busembedde” (2).

2. Yokaana yalyanga ______________ na ______________(4).3. Ani yajja eri Yokaana naye nga ayagala okubatizibwa?

________________________ (13)4. Yesu bwe yava mu mazzi, Omwoyo wa Katonda

yamukkako mu kifaananyi kya ____________ (16).5. Eddoboozi eryava mu ggulu lyagamba nti, “Ono ye

____________________ omwagalwa gwe nsanyukiraennyo” (17).

Okwenenya Kitegeeza ki?Okwenenya kitegeeza okunakuwala olw’ekikolwa ekikya-

mu oba nga waliwo kye tulemeddwa okutuukiriza. Era mumutima oba nga oyaayana okwagala obutaddayo kukola ngabwe wakola. Okwenenya kitegeezaa okukyuka n’okomyaokukola ebikyamu n’okola ebituufu. Ebintu ebikyamu bye tuko-la biyitibwa bibi. Eky’amazima kiri nti buli kintu kyonna ekita-sanyusa Katonda kiyitibwa kyonoono oba kibi. Okwenenya oku-

tuufu bulijjo kuleeta enkyu-kakyuka entuufu mu mitimagyaffe. Waaliwo akawala akaa-gamba nti; “okwenenya kite-geeza okunakuwala ekimalan’otuuka n’obutaddamu kuko-la ebyo era n’obivaako.” Bwe tu-saba eri Yesu, ajja kutuyamba 8 9

atuwe amaanyi agatunyweezaokusobola okubivaako. Ayinzaokukyusa omutima ogubaddegujjudde ebibi ne gukyukira ddalane gutukula. Mu mitima gyaffeajja kujjamu ebibi ateekemuOmwoyo we. Wali osabyekonga oyaniriza Mukama waffeYesu okujja mu mutima gwo?

Akawala kano kasaba Yesu.Awo kaatula ebibi byako era

kategeeza Yesu nga bwe kana-kuwalidde ebyo bye kaakola.

Yesu ajja kuwulira essaala yaakoera akasonyiwe. Era ajja kukayamba

okusobolanga okukola ebintu ebituufubulijjo. Ajja kukawa omutima ogutukula.

Singa buli lunaku kanasabanga Yesu, ajja kukawa amaanyikabeere nga bulijjo kakola ebintu ebisiimibwa Yesu.

Obujulizi Obutali bwa BulijjoObwakatonda bwonna bwaaliwo mu kubatiizibwa kwa

Yesu Kristo okw’enjawulo. (1) Katonda Kitaffe yayogera ng’a-yima mu ggulu, ng’agamba nti, “Ono ye Mwana wangeomwagalwa, gwe nsanyukira ennyo.” (2) KatondaOmwana Ye yajja eri Yokaana okubatizibwa. Erinnya lyeery’obuzaale ye Yesu kubanga yajja okutulokola mu bibibyaffe. (3) Katonda Omwoyo Omutukuvu, eyakka ku nsi ng’a-va mu ggulu mu kifaananyi eky’ejjuba n’awummulira ku Yesu.

Nga okwagala kwa Katonda kwa kyewuunyo nnyo gye tuli,olaba yeeraga eri abantu mu ngeri ezo essatu!

“Bwe twatulaebibi byaffe, Yemwesigwa eramwenkanyaokutusonyiwaebibi byaffebyonna.”

1 Yokaana 1:9a

Page 4: A bible study on matthew luganda

twala waggulu ku kitikkiro kyayekaalu 6n’amugamba nti, “Obaoli mwana wa Katonda, buukaogwe wansi, kubanga kyawand-iikibwa nti, alikulagiriza bama-layika be era tolyesittala kigerekyo ku jjinja.” 7Yesu n’amugam-ba nti, “Nate kyawandiikibwanti, ‘Tokemanga MUKAMA Ka-tonda wo.’” 8Nate, Setaani n’a-twala Yesu waggulu ku lusoziolugulumivu ennyo n’amulenge-za obwakabaka bwonna obw’e-nsi n’ekitiibwa kyabyo. 9N’amu-gamba nti, “Ebyo byonna nzijakubikuwa bw’onovunama n’o-nsinza.” 10Awo Yesu n’amuga-mba nti, “Vaawo ggwe, Setaani!Kubanga kyawandiikibwa nti;‘onasinzanga MUKAMA Kato-nda wo era Ye yekka gw’onowee-rezanga.’” 11Awo Setaani n’amu-leka, era laba, bamalayika ne ba-jja ne bamuweereza.

Matayo 4:1-111Awo Yesu n’akulemberwa

Omwoyo n’amutwala mu ddu-ngu okukemebwa Setaani. 2Bweyamala okusiiba ennaku amaku-mi ana emisana n’ekiro, awo e-njala n’emuluma. 3Awo omuke-mi bwe yajja n’agamba nti,“Oba nga oli mwana wa Ka-tonda, lagira amayinja gano ga-fuuke emmere.” 4Naye n’adda-mu nti, “Kyawandiikibwa nti, o-muntu tabeerenga mulamu nammere yokka, wabula na buli ki-gambo ekiva mu kamwa ka Ka-tonda.” 5Awo Setaani n’amu-

Eby’okukolaA. Ddamu ebibuuzo bino wammanga era eby’okuddamubyonna bisangibwa mu ssomo 4.

1. Okusiiba kitegeeza obutalya mmere. Yesu yamala enn-aku mmeka nga talya emisana n’ekiro? ______________________________ (2)

10

ESSOMO 4. YESU AKEMEBWA OMULABE 2.Ani yajja mu ddungu okukema Yesu? ____________________ _________ (enyiriri 1 ne 3)

3. Omukemi yali ayagala Yesu amayinja agafuule ____________________ (3).

4.Omukemi yali ayagala Yesu abuuke agwe wansi okuvaku kitikkiro kya ______________ (5).

5. Omukemi yali ayagala Yesu avuname asinze _______(9).B.Yiga olunyiriri luno: “Onasinzanga MUKAMA Katonda

wo era Ye yekka gw’onaweerezanga.” —Matayo 4:10b

Yesu Yagaana Okugondera OmukemiOmukemi bwe yagezako nga ayagala Yesu okumu-

gondera, Yesu teyamugondera era yali ategeera eddoboozilya Setaani. (Erinnya ly’omukemi eddala ye Setaani era lyebasinze okukozesa mu Essomo 4.) Omukemi yagezaakonnyo ng’ayagala Yesu akozese obuyinza bwe mu ngerienkyamu. Kino kiyitibwa kikemo. Yali agezaako okukemaYesu akole ebikyamu. Naye Yesu teyagondera mukemi. Mungeri eyo Yesu teyagondera mukemi era yawangula okuke-mebwa so teyayonoona. Yesu yajjirwa ebikemo bisatu, nayeteyagonderako yadde ekimu kyokka. Lowooza kino omukemiokwagala Yesu avuname amusinze! Tetuteekwa kumusinza.Ekyo kikyamu nnyo. Singa Yesu yawuliriza Setaani, yandi-badde mugagga mu bintu by’ensi. Naye Yesu yagaana eranga tayagala kugondera Setaani na kumuweereza. Kalenaffe tulina okuba abegendereza. Eby’obugagga tetulina ku-bifuna mu ngeri nkyamu katugambe mu: kukumpanya, okubbaoba okwegaana Mukama waffe Yesu Kristo. Tuteekwa bulijjookukulembeza Kristo mu bulamu bwaffe era n’okukola ngabw’ayagala ne bwe kiba nga tulina kubeera baavu. Yesu ya-yavuwala ku lwaffe ggwe nange tufune obulamu obutaggwaa-wo era luliba lumu ne tugenda okubeera eyo emirembe gyo-nna (2 Abakkolinso 8:9).

Amaanyi gaffe tetuteekeddwa kugakozesa mu ngeri nkya-11

mu. Bulijjo tuteekwa okukuuma amateeka gonna ag’obu-tonde era ne tukuuma bulungi emibiri gyaffe. Yesu yatuyigi-riza kino bwe yagaana okubuuka okuva waggulu ennyo kukitikkiro kya yekaalu. Tetuteekwa kukosa oba okulumya emi-biri gyaffe nga tukigenderedde.

Ekyama Yesu kye YakozesaEkiseera kyonna omulabe buli lwe yakemanga Yesu, nga

Yesu yakozesanga KIGAMBO kya KATONDA. Ekyo ggwenange kye tulina okukola. Katonda yatuwa Bayibuli okugiso-manga. Bayibuli kye Kigambo kya Katonda. Bwe tusomaBayibuli tufuuka ba maanyi. Kye tulina okuyiga z’enyiriri zaBayibuli zituyambe okuwangula omukemi. Ekikemo bwe kijjagye tuli, olwo kiba nga tekinaba kufuuka kyonoono. Naye bwetugondera ekikemo olwo ne twonoona. Bayibuli etugamba muAbaebbulaniya 4:15b nti Yesu “yatuukibwako okukemebwakwonna nga ffe, naye teyayonoona.” Yesu teyagonderakikemo kya mukemi kyonna yadde ekimu obumu.

Jjukira kino:Eddoboozi lyonna erijja gy’oli nga ligezako okukukozesa

ebikyamu libeera lya Setaani. Eryo teribeera doboozi lya Ka-tonda! Yanguwa mangu awo okusaba eri Yesu akuwe amaa-nyi oleme okugondera eddoboozi lya Setaani. Setaani bw’ala-ba nga tayinza kukukema kukukozesa bikyamu, akuvaakon’agenda era nga omukemi bwe yava awaali Yesu n’amuleka.

12

ESSOMO 5. YESU ALONDA ABAYAMBI BEMatayo 4:17-22

17Okuva mu kiseera ekyo Yesun’atandika okubuulira ng’aga-mba nti; “mwenenye, kubangaobwakabaka bwa Katonda bu-sembedde.” 18Awo Yesu bweyali ng’atambula ku lubalama

Eby’okukolaA. Ddamu ebibuuzo ebyo byonna awo wammanga ngaojjuzamu. Eby’okuddamu byonna bisange mu ssomo 5.

1. Erinnya lya muganda wa Simooni Peetero ye yali ani?___________________________ (18)

2. Ab’oluganda abo kiki kye baali basuula mu nnyanja?____________________________ (18)

3. Yakobo mutabani wa Zebidaayo naye yalina mugandawe. Yali ayitibwa ani? __________________ (21)

4. Ab’oluganda abo ababiri kiki kye baali baddaabiriza?________________________ (21)B. Yiga ebigambo Yesu bye yagamba ab’oluganda abo.“Mungoberere, nange ndibafuula abavubi b’abantu.”

—Matayo 4:19b

Okuyitibwa Okunene Okw’okugoberera YesuKirabikira ddala nga abavubi bano bajjula essanyu bwe

baawulira Mukama waffe ng’abayita okumugoberera! Baa-muwulira mangu nnyo na ssanyu. Mu kifo ky’okukwasa ebye-nnyanja mu butimba bwabwe, nga olwo bagenda kutandikakuvuba bantu. Yesu ayagala abagoberezi bangi. Eky’ama-zima kiri nti ayagala fenna tumugoberere! Naawe ogobereraYesu? Bwe kiba nedda, lwaki nedda? Ekyo wali okilowoze-

13

lw’ennyanja ey’e Galiraaya,n’alaba ab’oluganda babiri, Si-mooni eyayitibwanga Peeterone Andereya muganda we, ngabasuula obutimba bwabwe munnyanja; kubanga baali bavubi.19N’abagamba nti, “Mungobe-rere, nange ndibafuula abavubib’abantu.” 20Amangu ago nebaleka awo obutimba bwabwe

ne bamugoberera. 21Era bwe ya-va awo n’alaba ab’olugandaaba-lala babiri, Yakobo muta-bani wa Zebidaayo ne Yokaanamuganda we nga bali mu lyatone taata wabwe Zebidaayo ngabayunga emigonjo gyabwe.N’abayita, 22era amangu ago nebaleka taata wabwe n’eryato nebamugoberera.

Page 5: A bible study on matthew luganda

14

zzako? Okuyitibwa okusingira ddala obukulu mu byonna kwekwa Yesu Kristo ng’ayita okujja okumugoberera! OkugobereraYesu kitegeeza kwetwalira bulamu obutaggwaawo. Mu Yo-kaana essuula 14 olunyiriri 6b, Yesu agamba nti, “Nze kku-bo, n’amazima n’obulamu. Tewali ajja eri Kitange, oku-jjako ng’ayita mu Nze.”

ESSOMO 6. EBYO KRISTO BYE YAYIGIRIZA

Matayo 5:1-121Olwalaba ebibiina, n’agenda

waggulu ku lusozi, awo bweyatuula wansi, abayigirizwa bene bajja w’ali. 2Awo n’ayasa-mya akamwa ke n’abayigiriza,ng’agamba nti, 3“Balina omu-kisa abaavu mu mwoyo, kuba-nga obwakabaka obwo mu ggu-lu bwe bwabwe. 4Balina omuki-sa abo abakaaba, kubanga bali-sanyusibwa.

5Balina omukisa abawulize;kubanga be balisikira ensi. 6Bali-

na omukisa abo abalumwa enja-la n’enyonta olw’obutuukirivu;kubanga balikkusibwa. 7Balinaomukisa ab’ekisa; kubanga ba-lisaasirwa. 8Balina omukisa aba-lina emitima emirongoofu, ku-banga abo be baliraba Kato-nda. 9Balina omukisa abataba-ganya olw’emirembe, kubangabaliyitibwa baana ba Katonda.10Balina omukisa abo abayi-gganyizibwa olw’obutuukirivu,kubanga obwakabaka obw’e-ggulu bwe bwabwe. 11Mulinaomukisa bwe babakuba ne ba-bayigganya, ne babawaayirizabuli kigambo ekibi olw’oku-balanga Nze. 12Musanyuke mu-jaguze nnyo, kubanga empeerayammwe nnene mu ggulu, ku-banga bwe batyo bwe baayi-gganyanga banabi abaabasoo-ka.”

Balina Omukisa Abakola Eby’ekisaLwali lumu omusajja yali atambula ng’ayita mu nsi embi

ennyo, n’asanga embwa ng’erina ekiwundu ku kigere. Omu-sajja oyo yakebera ekigere ky’embwa n’asaangamu eri-

15

ggwa. Eriggwa eryo yalitundula bulungi, n’anaazawo, ekige-re ky’embwa n’akisiba bulungi n’akatambala ke. Awo embwane yeetambulira n’egenda.

Oluvanyuma lw’ebyo, omusajja oyo Abayindi ne bamu-wamba. Baamusiba mu kkomera nga n’ekibonerezo kyealina kuttibwa. Amangu ago embwa y’Omuyindi ow’omulukan’edduka n’etuuka ku musajja oyo. Awo n’etandika oku-mukomberera ku mikono n’okulaga nga emwagala nnyo.Omuyindi yakizuula nga omusajja oyo ye yawonya embwaye olulala. Yasiima nnyo ekikolwa ky’omusajja oyo era n’a-muta ne yegendera.

“Balina omukisa ab’ekisa; kubanga balikwatirwa eki-sa.” —Matayo 5:7

EbyesiimisaMu ssomo ery’omukaaga mulimu “okwesiima” kwa mirundi

mwenda. Wano obw’edda aguyita mukisa. Yadde nga Ka-tonda yatuwa amateeka kkumi, Yesu Ye yatulaga okwesiimakwa mirundi mwenda. Naye nno, mu Okubikkulirwa, essuula22, olunyiriri 14, waliwo ekirala ekigamba nti, “BalinaOmukisa” — “Balina omukisa abo abakola amateeka,baliba ba ddembe okulya ku muti ogw’obulamu, erabaliyingira nga bayita mu mulyango gw’ekibuga.”

ESSOMO 7. YESU ATUYIGIRIZAOKUSABA

Matayo 6:5-155“Era bwe musabanga, temu-

fanananga nga bananfuusi. Ku-banga baagala okusaba nga ba-yimiridde mu makunganiro neku nguudo, mbu era babalabe.Mazima ddala, mbagamba nti,bamaze okufuna empeera yaa-

16

bwe. 6Naye ggwe bw’osabanga,yingiranga mu kisenge kyomunda, ggalawo olugi lwo, sabaeri Kitaawo oyo alaba mu kya-ma; era Kitaawo oyo amanyaebyama alikuwa empeera yo mulwatu. 7Naye bwe musabangatemuddingananga mu bigambonga abakafiiri bwe bakola. Ku-banga balowooza nti banawu-lirwa olw’ebigambo byabweebingi. 8N’olw’ekyo temufana-nanga nga abo kubanga Kita-mmwe amanya bye mwetaaganga temunasaba. 9Mu mpisaeyo, n’olw’ekyo musabengabwe muti: Kitaffe ali mu ggulu,erinnya lyo litukuzibwe. 10O-

bwakabaka bwo bujje. By’oya-gala bikolebwe mu nsi, nga bwebikolebwa mu ggulu. 11Tuweleero emmere yaffe eya bulijjo.12Era otusonyiwe ebyonoonobyaffe nga naffe bwe tusonyiwaabatusobya. 13Totutwala mukukemebwa, naye otulokole eriomubi. Kubanga obwakabaka,n’obuyinza n’ekitiibwa bibyoemirembe n’emirembe. Amiina.14Kubanga bwe musonyiwa a-bantu ebyonoono byabwe; Ki-tammwe ali mu ggulu nammweagenda kubasonyiwa. 15Nayebwe mutali basonyiwa busobyabwabwe, ne Kitammwe naye ta-lisonyiwa kusobya kwammwe.”

Eby’okukolaA. Wammanga awo waliwo essaala Yesu gye yatuyigirizaokusabanga. Ebigambo ebimu baabibuukidde. Ddamu otu-nuulire nate essomo ery'omusanvu oluvanyuma ojjuzeemuebigambo ebibulamu.

Kitaffe ali mu ____________, erinnya lyo litukuzibwe.Obwakabaka bwo bujje. By’oyagala bikolebwe mu______________, nga bwe bikolebwa mu ____________.Tuwe leero __________ yaffe eya bulijjo. Era otusonyiweebyonoono byaffe, nga bwe tusonyiwa __________.Totutwala mu kukemebwa, naye otulokole eri ___________.Kubanga obwakabaka, n’ ____________, n’ _____________,bibyo, emirembe n’emirembe. Amiina. (enyiriri 9-13)B. Essaala eno giyige. Ky’eky’okulabirako ky’okusaba era oku-

17

lung’amya kw’essaala entuufu. Tuyiga bingi nga bisinziira mussaala eno.

1. Kitaffe abeera mu ggulu era Ye Kitaffe eyatutonda eraatwagala.

2. Erinnya lye terikozesebwa mu bya kusaaga. “Erinnya lyoLitukuzibwe.”

3. Buli yenna abeera mu ggulu akola okwagala kwa Kato-nda. Kitugwanidde okusaba okwagala kwe kukolebwe ne kunsi. Singa buli muntu yenna akola okwagala kwa Katonda,ensi yaffe nga yandibadde ya kitalo nnyo!

4. Kitaffe tuyinza okumutegeeza byonna bye twetaaga. N’e-mmere obumere eya buli lunaku tugimusaba. Ayagala oku-tugabirira mu byetaago byaffe byennyini. Ajja kutuyambaokukola ku bizibu ebiri mu bulamu bwaffe.

5. Abalala tubasonyiwa tutya? Yesu anatusonyiwanga kye-nkanyi nga naffe bwe tusonyiwa abalala. Katonda tayinza ku-tusonyiwa nga tulina ekiruyi, obukaawu, obukyayi oba ekko-nda mu mitima gyaffe. Katonda atusonyiwa bye tusobya si-nga nga naffe tusonyiwa abo abatusobya.

6. Katonda alina obuyinza bwonna obutununula mu kuke-mebwa n’eri omulabe.

7. Katonda asobola nnyo okukola ku bye tumusaba kuba-nga obwakabaka, n’obuyinza n’ekitiibwa bibye.

ESSOMO 8. OBULABIRIZI BWA KATO- NDA OBWA BULI LUNAKU

Matayo 6:25-3425“N’olw’ekyo mbagamba nti,

temweralikiriranga bya bulamubwammwe, bye munaalya obabye munaanywa; yadde emibirigyammwe bye munayambalanga.Obulamu tebusinga emmere, obaomubiri tegusinga byambalo?

Page 6: A bible study on matthew luganda

18

26Mutunuulire ebinyonyi eby’o-mu bbanga; tebisiga so tebi-kungula yadde era tebirina namateekero. Naye era nabyo Ki-taffe ow’omu ggulu abiriisa.Mmwe temusinga nnyo binyo-nyi ebyo? 27Ani ku mmwe ayi-nza okweyongerako ekintu kyo-nna olw’okweralikirira kwe?28Kale lwaki mweralikirira e-by’okwambala? Mulowooze kumalanga ag’oku ttale; engerigye gakulamu; tegakola so te-galanga ngoye; 29naye era mba-gamba nti yadde ne Sulemaanimu kitiibwa kye teyafanananga erimu ku go. 30Kaakanooba nga Katonda ayambazaomuddo oguli ku ttale, ogubee-

rawo olwa leero enkya ne guka-la, talibambaza nnyo mmweabalina okukkiriza okutono?31N’olw’ekyo, temweralikirira-nga nga mugamba nti, ‘tunaa-lya ki?’ oba ‘tunanywa ki?’ oba‘tunayambala ki?’ 32Kubangaababi nabo ebyo bye banoonya.Kubanga Kitammwe ali muggulu amanyi nga ebyo byonnamubyetaga. 33Naye musookemunoonye obwakabaka bwaKatonda n’obutuukirivu bwe;n’ebirala byonna biribonge-rwako. 34N’olw’ekyo, temwera-likiriranga bya nkya, kubangaolw’enkya lujja kweralikiriraebyalwo. Olunaku olumu emi-tawana gyalwo girumala.”

Eby’okukolaYiga olunyiriri luno: “Naye musooke munoonye obwaka-

baka bwa Katonda n’obutuukirivu bwe, n’ebirala byonnabiribongerwako.” —Matayo 6:33

Bye Tuyiga Okusinziira ku BinyonyiWali otunuulidde ku bunyonyi obutono nga bwetaaya mu

bbanga? Bubeera n’essanyu. Tebuba na kwerarikirira kwonna.Tewali kibutiisa. Buli lunaku buzuukuka nga buyimba. Bulilunaku bweyanza emmere gye bufuna ne bulya. Tebwera-liikirira mmere ya nkya. Bumanyi nga n’enkya bujja kufunaemmere. Bwesiga Katonda nga ajja kubulabirira bulungi.

Ggwe nange twandibadde nga ebinyonyi. Tuteekwa kubabasanyufu ne tuyimba amatendo ga Katonda buli ku makya,buli lunaku. Tetuteekeddwa kweraliikirira mmere yaffe yankya. Oyo Katonda eyatonda obunyonyi era abuyamba ne

19

bufuna emmere buli lunaku, era naffe ajja kutuyamba tufuneemmere eya buli lunaku. Tuteekwa okumwesiga. Tusinga nnyoobunyonyi.

Bye Tuyiga Okuva ku MalangaWali olabye ku malanga? Bimuli birungi ebitera okumera

ku ttale. Bibeera nga bifaanana bulungi ate ebimu birina era-ngi enjeru ennungi ennyo. Yesu yagamba nti amalanga ganogayambala bulungi okusinga kabaka omu eyali omugaggaennyo Sulemaani! Ate nga amalanga ago tegeeraliikirira byeganayambala yadde bye ganaateekako. Katonda yagawadda obulungi bwago n’agambaza n’erangi ennungi. Ggwenange kitugwanidde okwesiga Katonda nga anatwambaza-nga. Ye yatutonda era ayagala tumwesige nga y’ajja oku-tuwa eby’okwambala. Ffe tusinga nnyo amalanga.

Ekintu Ekisinga ObukuluEkisuubizo kya Katonda eri ggwe nange tukisanga mu lu-

nyiriri lwe tulina okuyiga. Tuteekeddwa kusooka kunoonyaKatonda. Y’ateekwa okukulembera mu ndowooza zaffe, mumitima gyaffe ne mu bulamu bwaffe. Tuteekwa kubeerawoku lulwe era nga Ye gwe tusinga okwagala era tumwagaleokusinga byonna ebiri mu nsi. Bwe tumukulembeza, Ye ajjakutulabirira nnyo okusinga ffe bwe tuyinza okwerabirira!

ESSOMO 9. OBULUNGI BWA KATONDAGYETULI

Matayo 7:7-127“Musabe muliweebwa; mu-

noonye muliraba; mweyanjulemuliggulirwawo. 8Kubanga a-saba aweebwa, anoonya alabaera n’eyeyanjula aggulirwawo.9Oba ani ku mmwe omwana webw’amusaba omugaati n’amu-wa ejjinja? 10Oba bw’asaba

20

ekyennyanja n’amuwa omuso-ta? 11Oba nga mmwe ababi mu-manyi okuwa abaana bammweebirungi, Kitammwe ali muggulu talisinga nnyo kubawabintu birungi abo abamunoo-

nya! 12N’olw’ekyo, buli kyemwagala abantu okukibakole-ra, nammwe mukibakolerenga,kubanga eryo ly’Etteeka ne Ba-nabbi.”

Bye Tuyiga nga Tusinziira ku KyawandiikibwaEkyo Waggulu

1. Katonda ayanukula bye tusaba era Kitaffe ali mu ggulugwe tulina okusaba.

2. Okwagala Kitaffe kw’alina eri ffe kusingira ddala okwa-gala kwa bazadde baffe abali ku nsi. N’olw’ekyo ajja kutuwa-nga ebintu ebirungi oba ebintu ebirungi eri obulamu bwaffe.

3. Anoonya ennyo Katonda oyo ajja kuweebwa empeera.4. Okuyigiriza kwonna okuli mu Bayibuli kujjayo amazima

gano—okukolera abalala nga naffe bwe twagala batukolere.“Abalala” kitegeeza buli muntu omulamu si abo bokka ab’e-wammwe oba ab’enzikiriza yo.

Eby’okukolaYiga olunyiriri luno olukulu. Luyitibwa Etteeka erya Zaabu.“N’olw’ekyo, ebyo bye mwagala abantu babakolere,

nammwe mubibakolerenga.” —Matayo 7:12a

Ebyo Etteeka erya Zaabu bye LikozeAbakazi n’abasajja bwe batambulira mu tteeka erya zaabu

ne bagoberera bye ligamba, wabeerawo ebintu ebyewuunyi-sa ebibalukawo. Bino bye bimu kw’ebyo:

1. Amalwaaliro gazimbibwa olw’abalwadde.2. Amaka gazimbibwa okuyamba abaavu, abaana abatali-

na bazadde, era n’abantu abakadde abatalina babalabirira.3. Amakomera galongoosebwa ne mu by’obuyonjo.4. Abantu baweebwa eddembe. Tebakyagulibwa na kutu-

ndibwa nga baddu.

21

5. Oluusi abaavu babawa emmere n’engoye.6.Abantu baagalana era ne bagezaako okuwewula emigu-

gu ne gibeera nga gyanguwa okusitula.7. Abakulembeze bagezaako okukola amateeka agaku-

uma abo be bakulembera.8. Abantu baweebwa eddembe okusinza Katonda nga bwe

basobola.

Ekibuuzo Ekirungi OkwebuuzaBw’oba nga tewekakasa ngeri gy’oyinza kugoberera Ttee-

ka lya Zaabu mu bulamu bwo, oba bw’oba nga tewekakasangeri gy’oyinza kuyisamu mutambuze, ow’omukwano, obamulabe, webuuze ekibuuzo kino: “Singa nga nze mbaddemu kifo kye, nandibadde njagala ankolere ki?” Ekyo bw’o-kiddamu mu mazima mu mutima gwo era n’okikola, olwo ngaogoberedde Etteeka erya Zaabu.

ESSOMO 10. ABAZIMBI ABABIRIn’ekuntira ku nnyumba eyo;naye teyagwa, kubanga yazim-bibwa ku musingi gwa lwazi.26Era na buli awulira ebigambobyange naye n’atabikola, afa-nana nga omusajja omusiru eya-zimba ennyumba ye ku muse-nyu: 27era enkuba n’etonnya,amataba ne gajja, empewo n’e-kunta era kibuyaga n’akuba e-nnyumba n’egwa. Era n’ekigwokyali kinene.” 28Awo Yesu bweyamala okwogera ebigambo ebyo,abantu ne bawuniikirira nnyoolw’enjigiriza ye, 29kubanga ya-bayigiriza nga nannyini buyinzaso si nga abawandiisi.

Matayo 7:24-2924“N’olw’ekyo buli awulira ebi-

gambo byange, era n’abikola, ndi-mufananya nga omusajja ow’a-magezi eyazimba ennyumba yeku lwazi: 25enkuba n’etonnya,amataba ne galinnya, empewo

Page 7: A bible study on matthew luganda

Eby’okukolaJjuza mu mabanga ago wammanga. Eby’okuddamu byonnaobisanga mu ssomo 10.

1. Omusajja eyawulira ebigambo bya Yesu era n’abikolayamufaananya __________________ eyazimba ennyumbaku lwazi (24).

2. Omusajja eyawulira ebigambo bya Yesu N’ATABIKOLAyamufaananya omusajja ____________ eyazimba ennyu-mba ye ku musenyu (26).

Omuzimbi ow’amageziGgwe nange bwe tubeera nga twagala okufanana n’o-

musajja omugezi, olwo tulina okuwuliriza ebigambo bya Yesuera ne TUBIKOLA. Ebigambo bya Yesu tubisanga mu Ba-yibuli. Ebigambo bya Yesu bingi bye tusanga mu Matayo, erabye tuyigako kati. Obulamu bwaffe bwe tubuzimbira ku bi-gambo bya Yesu ne tubigondera, awo omuyaga ne bwe gujjatusigala nga tuli bagumu. “Omuyaga” mu bulamu bye bintunga ebigezo, emitawaana, ebintu ebizibu, oba n’ebintu ebijjagye tuli nga bireeta ennaku. Yesu Kristo ali nga olwazi.Munyweevu akakasibwa era tayinza kusimbulwa. Obulamubwaffe bwe tubuzimba ku ye, olwo Ye atukwata n’atunywee-za era tewali kintu kyonna kiyinza kutunyeenya ne tumuvaa-ko. Oyagala okubeera omuzimbi ow’amagezi? Kale kati kki-riza Yesu ajje mu mutima gwo. Saba Yesu era omugambeajje ayingire mu mutima gwo. Ayagalannyo. Ggwe olina kuggulawo olugilw’omutima gwo, naye anayingira.

EssaalaMukama, sonyiwa buli kibi kyange;Nnaaza era ontukuze munda,Beeranga mu nze buli lunaku; nsabyeonnung’amye mu byonna bye nkola ne bye njagala.

22 23

Yesu mu Okubikkulirwa 3:20 yayogera ebigambo bino:“Laba nyimiridde ku lugi nkonkona. Omuntu yenna bw’a-wulira eddoboozi lyange n’aggula olugi, nnaayingiragy’ali ne ndya wamu naye, naye n’alya nange.”

Omuzimbi OmusirusiruAbantu abamu tebagondera Kigambo kya Katonda. Ba-

wuliriza buwuliriza ne beerabira bye bawulidde. Bafaanananga omusajja omusiru. Omuyaga gw’ensi bwe gubakuba,tebasobola kuyimirira naye bakkirira mangu ne bagwa ngaennyumba eyazimbibwa ku musenyu. Kino kibi nnyo. Teba-kkiriza Yesu kuyingira mu mitima gyabwe era tebagonderabigambo bya Yesu.

Yiga Olunyiriri Luno“Naye mubeerenga abakozi b’ekigambo, so si bawulizi

buwulizi.” —Yakobo 1:22a

Matayo 8:23-2723Awo bwe yayingira mu lya-

to, abayigirizwa be ne bamugo-berera. 24Amangu ago omuyaga

ogw’amaanyi ne gujja ku nnya-nja, eryato ne lijjula amayengo.Naye yali yeebase. 25Awo abayi-girizwa ne bajja gy’ali ne ba-muzuukusa nga bagamba nti,“Mukama waffe, tulokole! Tu-zikirira!” 26Naye n’agamba nti,“Lwaki mutya, O! mmwe aba-lina okukkiriza okutono?” Awon’agolokoka n’aboggolera omu-yaga ogwali ku nnyanja. 27Awoabasajja ne bawuniikirira, ngabagamba nti, “Ono y’ani, omu-yaga n’ennyanja bimuwulira?”

ESSOMO 11. OMUYAGA N’ENNYANJABIGONDERA YESU

24

Omuyaga ku nnyanjaYesu n’abayigirizwa be baali ku nnyanja mu lyato eddene.

Yesu yali akooye era nga yeebase. Bwe yali nga akyebase,omuyaga ogw’amaanyi ne gusituka ku nnyanja. Amayengone gasituka eryato ne libulira mu mayengo! Abayigirizwabaatya nnyo ne bazuukusa Yesu. Yesu ateekwa okuba ngayeewuunya nnyo, okulaba nga abayigirizwa baali batiddennyo. Naye bwe yalaba okukkiriza nga kutono, N’agolokokan’alagira omuyaga n’ennyanja okuteeka. Amayengo agaaliku nnyanja gaateeka. Awo abayigirizwa baategeera nga bwebaali n’Omusajja ow’ekyewuunyo ennyo era nga wa njawuloku basajja abalala bonna be baali balabye. Mazima ddalaomusajja oyo Ye Mwana wa Katonda! Omuyaga n’ennyanjabimugondera!

Bye Tulina OkujjukiraEdda ennyo waaliyo omukazi ng’alina bawala be

babiri bonsatule baali nga basaabala mu lyato eddene kunnyanja. Obuzibu ne butuuka ku nnyanja eryato ne litandikaokubbira. Abantu abaali mu lyato ne bajjula entiisa. Nayeomukazi oyo n’abaana be baali baagala Yesu era ngabamutya ate nga bamwesiga. Omanyi omuwala omukulu kyeyayogera? Yagamba maama we nti, “Maama, ennyanja yiye,kubanga Ye yeyagikola, n’olw’ekyo tuleme kutya. Yadde ngatunabbira, tujja kuba nga tetunnasukka bulabirizi bwe.” Baalinga bajudde okwakayakana mu maaso gaabwe era nebasisinkana okufa mu buziba bw’ennyanja. Jjukira kino,mmwe mikwano gyange abaagalwa, “TEWALI KULUMAKWENYINI KUYINZA KUJJA GYE TULI YESU BW’ABEERANAFFE.”

25

Matayo 10:28-3328“Era temutya abo abazikiri-

za omubiri so nga tebayinza ku-tta mwoyo. Naye mutye oyo ayi-nza okuzikiriza byombi emmee-me n’omubiri mu geyena. 29E-nkazaluggya ebbiri tebazitunda

nnusu? Naye tewali n’emu egwaku ttaka nga ssi kwagala kwaKitaffe. 30Naye n’enviiri eziriku mutwe gwo azimanyi omu-wendo. 31N’olw’ekyo temutya;enkazaluggya enyingi muzisi-nga omuwendo. 32N’olw’ekyobuli anjatulira mu maaso g’aba-ntu, nange ndimwatula mumaaso ga Kitange Oyo ali muggulu. 33Naye buli anegaana mumaaso g’abantu, nange ndi-mwegaana eri mu maaso ga Ki-tange Oyo ali waggulu.

Okwatula Kristo KyetaagisaYesu Kristo yatusuubiza nti bwe tumwatula ku nsi mu maa-

so g’abantu, Naye bwe tulituuka mu ggulu y’alitwatula mumaaso ga Katonda. Kino kya kitalo nnyo! Okumwatula kite-geeza kuyimirira ku Ye mu bigambo byaffe era ne mu biko-lwa byaffe. Ggwe abantu abalala otera okubategeeza kumaanyi ga Yesu agayinza okutulokola mu bibi byaffe? Aba-ntu abalala obategeeza kw’ebyo bye yakukolera era ngaggwe bwe yakulokola? Bino bye bimu ku bintu bye tuteekwaokukola bwe tuba nga twagala okwatula Yesu mu maaso g’a-bantu.

Naye nno, ensonyi bwe zitukwata ne tulemwa okwogera kuYesu, era ne tulemwa okukola ebyo abantu nga bwe kitu-gwanidde eri abantu, olwo Mukama waffe tuba nga tumwe-gaana mu maaso g’abantu. Kino kikulu nnyo era kinyiizaYesu mu mutima gwe. Tuteekwa okusaba Yesu n’atusonyiwa

ESSOMO 12. TUTEEKWA OKUBABUULIRAKU BALALA EBIFA KU YESU

Page 8: A bible study on matthew luganda

26

era Ye gwe tulina okwesiga nga ajja kutuyamba tusoboleokukola ebintu ebisiimibwa mu maaso ge. Olwo ebya Yesuokutwegaanira mu maso ga Katonda mu ggulu ffe tetulibi-manya.

Tuleme Okutya AbantuAbantu abamu babi nnyo. Bakola ebintu ebizibu ennyo.

Oluusi batta abantu. Naye basobola kutta mubiri gwokka;tebasobola kutta myoyo. Omwoyo ky’ekitundu ekiri mundamu ffe nga kyo tekifa. Emibiri gyaffe bwe gifa, emyoyo ngagiddayo mu ggulu eri Katonda agigaba. “Kyateekerwawoomuntu okufa omulundi gumu, naye oluvanyuma lw’e-kyo musango” (Abaebbulaniya 9:27b). Ggwe nange tulinaokuwaayo embalirira y’ebikolwa byaffe eri Katonda.Abaruumi 14:12 agamba nti: “Olwo buli omu ku ffe ali-waayo embalirira ye eri Katonda.” Katonda gwe tulinaokutya. Laba Omubuulizi 12:13b ne 14. “Tyanga Katondaera okwate ebiragiro bye, kubanga gwe mulimu gwonnaogw’omuntu. Kubanga Katonda emirimu gyonna aligiyi-sa mu kulamula, na buli ekiri mu kyama, ekirungi eran’ekibi.”

Katonda yatugaana okutya ebyo abantu bye bayinza oku-tukola. Bayinza okutwogerako ebintu ebikyamu; bayinzaokutulumya; bakyayinza n’okututta, naye Katonda agambanti tusigale nga tumwesiga. Katonda ebintu byonna abi-manyi! Amanyi n’omuwendo gw’enviiri eziri ku mitwe gyaffe!Katonda ebintu byonna abimanyi! Era ne bwe kabeeraakakazaluggya oba akanyonyi akalala konna nga kaguddewansi, akimanya. Ffe tuli ba muwendo mungi okusingaenkazaluggya enyingi ennyo! Kale tayinza kutwerabira! MuAbaebbulaniya 13, olunyiriri 5b, Katonda agamba nti,“Sikwabulirenga so sikulekenga.”

27

Matayo 13:1-9 ne 18-231Ku lunaku lwe lumu olwo

Yesu yafuluma enju n’agendan’atuulira awo ku lubalamalw’ennyanja. 2Ebibiina ebinenene bekung’anyiza we yali, bw’a-tyo n’alinnya mu lyato n’atuulaomwo; ebibinja byonna ne ba-yimirira awo ku lubalama lw’e-nnyanja. 3Awo n’abuulira ebi-ntu bingi mu ngero, ng’agambanti, “Laba, omusizi yafulumaokusiga. 4Bwe yasiga, ensigoezimu ne zigwa ku mabbalig’ekkubo; ebinyonyi ne bijja nebizirya. 5Ezimu zaagwa ku ma-yinja, nga tewali ttaka lizimalakukula bulungi; ne zimera ma-ngu ago. 6Naye omusana bwegwayaka ne ziwotoka kubangatezasimba mmizi ne zikala. 7E-ndala zaagwa mu maggwa,

amaggwa ne gazifumita 8Nayeate endala zaagwa ku ttakaeddungi era ne zibala ebibala;ezimu kikumi, endala nkaaga,n’endala amakumi asatu. 9Alinaamatu ag’okuwulira awulire!”18“Kale muwulire olugero lw’o-musizi: 19Omuntu yenna bw’a-wulira ebigambo by’obwakaba-ka n’atabitegeera, awo omubiajja mangu n’amukwakkulakoebyasigibwa mu mutima gwe.Ezo z’ezaagwa ku mabbali g’e-kkubo. 20Naye oyo afuna ezaa-gwa mu mayinja, y’oyo awuliraekigambo n’akikwata manguago n’essanyu; 21naye ate ne ki-taba na mirandira mu ye, ne ki-beerawo akaseera katono. Ku-banga ebizibu bwe bijja n’okuyi-gganyizibwa olw’ekigambo, yesi-ttala mangu. 22Naye oyo afunaensigo ez’omu maggwa awuliraekigambo, okweraliikirira n’o-bulimba bw’ensi n’eby’obuga-gga ne bikifumitafumita, n’a-tabala bibala. 23Naye oyo afunaezaagwa ku ttaka eddungi,y’oyo awulira ekigambo n’aki-tegeera, y’oyo abalira ddalaebibala era ne byeyongerayonge-ra; abamu kikumi, abamu nkaa-ga, n’abamu amakumi asatu.”

ESSOMO 13. OLUGERO LW’OMUSIZI

28

Olugero kye ki?Mu ngeri eno kuba kugereesa nga tufuna eky’okulabirako

oba okutangaaza amazima agali mu ddiini.Eby’okukola

A. Wammanga awo waliwo emboozi ezeetaaga okujjuzamumu mabanga. Soma nate olugero olyoke ojjuzemu ebigamboebituufu.

1. Ensigo ezaagwa ku mabbali g’ekkubo zaalibwa _______________________ (4).

2. Ensigo ezaagwa ku mayinja tezaafuna ____________(5) lingi olwo omusana bwe gwayaka nga zimaze okumeru-ka ne __________________ (6), olw’okuba nga tezaalinamirandira ne ____________________________.

3. Ensigo ezaagwa mu maggwa, ________________ gaa-zifumita (7).

4. Ensigo ezaagwa mu ttaka eddungi za ____________(8).Amakulu g’olugero gannyonnyolwa

B. Nate soma olugero akatundu akannyonnyola amakulugalwo olyoke ojjuzemu mu mabanga.

1. Ensigo ezaagwa ku mabbali g’ekkubo zifaananyizibwanga abantu abawulira _____________ by’obwakabaka bwaKatonda naye ne bagaana ____________________ (19).Awo omubbi ajja n’abanyagako amazima gabyo mu mitimagyabwe.

2. Ensigo ezaagwa mu mayinja ziri nga abantu abawulira___________________ ne bakikwata n’essanyu (20). Nayeolw’okuba nga mu mitima gyabwe temubeeramu bbangalyabyo, ekigambo tekisimba mirandira. Awo bwe wajjawoebizibu n’okuyigganyizibwa nga __________________ (21).

3. Ensigo ezaagwa mu maggwa ziri nga abantu abawuliraEkigambo, naye ne bafuba nnyo mu mitawaana __________eno nga okukola eby’enju, okufumba, okusuubula, n’oku-

29

noonya eby’amasanyu. Era eby’obugagga by’ensi eno biba-limba ne bifumita ________________. Ne bafuuka________________ ________________ (22).

4.Ensigo ezaagwa ku ttaka eddungi ziringa abantuabawulira Ekigambo, ne bakitegeera. Bakikwata mu mitimagyabwe n’essanyu era ne batandika okukulembeza Katondamu bulamu bwabwe. Buli kintu kyonna ekiyinza okubajjiratekiyinza kubasuula. Tebaganya kweraliikirira bya buli lunakukuyingira kufumita Kigambo; era emitima gyabwe tebagi-tunuuliza bya bugagga. Beekuumira mu kusaba era ngabeesiga Katonda okubayambanga. N’olw’ekyo, babala______________ bingi, abamu kikumi, abalala nkaaga, n’a-balala amakumi asatu (23).

Ekibuuzo: Oli muwulizi wa kika ki?Bw’oba tobadde nga ensigo ezaagwa mu ttaka eddungi,

genda eri Mukama Yesu mu kusaba era omukkirize okujjamu mutima gwo ne mu bulamu bwo. Ajja kukuyambaokubala ebibala bingi.

ESSOMO 14. OMUSALABA N’ENGULEMatayo 16:24-28

24Awo Yesu n’agamba abago-berezi be nti, “Buli ayagala oku-ngoberera, yeefirize yekka, a-kwate omusalaba gwe, angobe-rere. 25Kubanga buli ayagalaokulokola obulamu bwe ku lwa-nge alibubuza, era buli abuza o-bulamu bwe ku lwange alibu-zuula. 26Kubanga omuntu alifu-na magoba ki bw’agobolola munsi yonna, naye n’afiirwa o-mwoyo gwe? Oba omuntu kiki

Page 9: A bible study on matthew luganda

30

ky’aliwanyisa mu kifo ky’o-mwoyo gwe? 27Kubanga Omwa-na w’Omuntu alijjira mu kitii-bwa kya Kitaawe ne bamalayikabe, olwo aligabira bonna empee-ra okusinziira ku mirimu gya-

bwe. 28Mazima ddala mbaga-mba nti, waliwo abayimiriddewano abatagenda kulega kukufa okutuusa lwe baliraba O-mwana w’Omuntu mu bwaka-baka bwe.”

Omusalaba Gwa BonnaBwe tubeera nga twagala

okugoberera Yesu, tuteekwaokuba nga twetegese okubu-za obulamu bwaffe ebintu ebi-mu nga tubyegaana. Olwotwetikka omusalaba Yesugw’atwagaliza. Yesu alina o-musalaba ogugwo era n’o-gwange. Yaleka byonna eki-tiibwa n’eby’obugagga n’ajjaku nsi atulokole mu kufa, ge-

yena, n’amagombe! Yabonabona nnyo ku lwaffe. Abaebbu-laniya 12, Olunyiriri 2b lugamba nti Yesu; “Olw’essanyu lyeyali alindirira yagumiikiriza omusalaba, so teyatya ku-swaala, era atudde ku mukono ogwa ddyo ogwa nnamu-londo ya Katonda.” Weewaawo, Yesu kati yaddayo muggulu eri ekitiibwa ekingi n’essanyu. Ayagala ggwe nangetugende eyo tubeerenga naye. Mu Yokaana 14:3, Yesu atu-tegeeza bw’ati; “Era ngenda kubategekera bifo, Ndikoma-wo nate okubanona; eyo gyendi, nammwe gye mulibee-ra.”

Okwefiiriza kitegeeza ki? Kitegeeza ebintu ebimu obu-tabikola osobole okukola ekisingako okuba ekikulu. Yesu ayi-nza okukugamba oleme kukozesa nsimbi zo oziweeyo zi-yambe mu kubunyisa enjiri eri abantu abatalina Bayibuli obaabatannawulira bulungi nnyo bigambo bya Yesu! Akyayinza

31

okukugamba okusiiba okumala akabanga nga osabiraomuntu alokoke oba omulwadde okuwonyezebwa. Oba a-kyayinza okukugamba oleme kugula kintu ky’obadde oya-gala naye ensimbi oziwe abayala oba abali mu bwetaavu.Yesu ayinza okukugamba ogende mu kifo ekimu obuulireabantu baayo ebya Yesu. Ebiseera ebimu atugamba okula-birira omwana eyafiirwako bazadde be, oba n’okumutwaliraddala okubeera naye mu maka gaffe ne tuyamba mu ku-bakuza. Waliwo engeri nyingi ze tuyinza okwefiirizamu netuyamba abalala.

Emmeeme yo Yamuwendo nnyo Okusinga EnsiSinga okola n’ofuba nnyo n’ofuuka nagagga mu nsi, naye

nga obadde toyagala Yesu era nga tomugoberera newa-kubadde okumwesiga okuba Omulokozi wo, obeera musi-rusiru nnyo. Emmeeme yo ebula! Wano tewali magoba go-nna gayinza kusasula bulamu butaggwaawo! Omuntu kikiky’alisasula olw’emmeeme ye? Waliwo omusajja omu eyaya-gala ab’ewabwe bamusiime okusinga nga bwe yandibaddeasiimibwa Katonda. Mu ngeri eyo emmeeme ye yagiwaanyi-samu n’okubeera omwatiikirivu nga yeenoonyeza ettutumu.Tewali kirabo kyonna mu nsi muno kiyinza kugabibwa bantuba nsi eno ababi ekiyinza okwenkana n’emmeeme y’omuntu.Tetuteekeddwa kukola kintu kyonna kiyinza kutujja ku Mu-kama waffe Yesu Kristo.

Eby’okukolaYiga olunyiriri luno: “Kubanga Omwana w’Omuntu alijji-

ra mu kitiibwa kya Kitaawe ne bamalayika be, olwo ali-gabira bonna empeera okusinziira ku mirimu gyabwe.”

—Matayo 16:27

32

ESSOMO 15. YESU AYAGALA ABATO

Matayo 18:10-1410“Mwekuume mulemenga ku-

nyooma bato bano, era mba-gamba nti eyo mu ggulu bama-layika babwe balaba amaaso gaKitange ali mu ggulu. 11Kuba-

nga Omwana w’Omuntu yajjakulokola ekyo ekyabula. 12Mu-lowooza mutya? Omuntu bw’a-beera n’endiga ekikumi, emuku zo n’ebula, taleka ziri ekye-nda n’agenda mu lusozi oku-noonya eri ebuze? 13Era bw’agi-zuula, mazima ddala, mbaga-mba nti, ajaguza nnyo olw’eyookusinga ekyenda mu omwe-nda ezitabuze. 14Era si kwe kwa-gala kwa Katonda ali mu gguluyadde omu ku bato bano oku-bula.”

Bye Tuyiga Okuva mu Lugero luno1. Abaana abato balina bamalayika. Bamalayika abo buli

lunaku balaba amaaso ga Katonda eyo mu ggulu. N’olw’ekyotulina okubeera abegendereza mu ngeri gye tuyisaamuabaana. Tuteekwa okuyamba omwana okukola ebituufu.

2. Omwana w’Omuntu nalyo linnya ddala lye bayita YesuKristo, Omwana wa Katonda. Oluusi bamuyita Mwana waMuntu kubanga yazaalibwa Maliyamu eyali nga tamanyi mu-sajja era bulijjo ayitibwa Mwana wa Katonda kubanga talinataata wa mubiri era Katonda Ye Kitaawe.

3. Ekyaleeta Yesu ku nsi, yajja kulokola ekyo ekyabula.4. Era nga omusajja oli bwe yagenda okunoonya endiga ye

eyali ebuze, bw’atyo ne Yesu Kristo bwe yajja okutunoonya.5. Era nga omusajja oli bwe yasanyuka ennyo ng’alabye

endiga ye, bw’atyo Yesu bw’asanyuka bwe tukkiriza n’atu-zuula!

33

6. Yesu asanyuka nnyo bwe wabeerawo omwana yennaamussamu obwesige era n’amukkiriza. Tayagala yadde omukw’abo okulabika ng’abula. Ayagala bonna balokolebwe.

7. Kino kitulaga nga bwe kiri ekikulu ennyo okusomesaabaana abato ebikwata ku Yesu era n’okubakulembera oku-batuusa eri Yesu.

Bye Tulina OkulowoozakoEkibuuzo: “Kiki ekituuka ku muntu agezako okugobaganya

omwana ng’ayagala okumulemesa okukkiriza ebya Mukamawaffe Yesu Kristo?”

Eky’okuddamu: Yesu agamba bw’ati mu Matayo 18:6: “Nayebuli alyesittaza omu ku bato bano abanzikiriza n’amus-uula mu kibi, kyandibadde kirungi okumusiba olubengomu bulago, n’asuulibwa mu buziba bw’ennyanja.”

YESU AYAGALA ABAANAABATO OKUJJA GY’ALI

Makko 10:13-1613Awo ne bamuleetera abaa-

na abato okubakomako, nayeabayigirizwa be ne bababoggo-

lera abo abaabaleeta. 14Naye Ye-su bwe yabalaba, n’asunguwa-la nnyo n’abagamba nti, “Mu-leke abaana abato bajje gyendiso temubagaana, kubanga aba-li nga abo obwakabaka bwaKatonda bwe bwabwe. 15Ma-zima mbagamba nti, buli ata-kkiriza bwakabaka bwa Kato-nda nga omwana omuto, tali-buyingiramu n’akatono.” 16N’a-bawambatira mu mikono gyen’abawa omukisa.

Page 10: A bible study on matthew luganda

34

ESSOMO 16. TUTEEKWA OKUSONYIWAABALALA

Matayo 18:21-3521Awo Peetero n’ajja gy’ali

n’amugamba nti, “Mukama wa-nge, muganda wange bw'ana-nsobyanga, n’amusonyiwangaemirundi emeka? Emirundi mu-sanvu?” 22Yesu n’amugambanti, “Sikugamba nti mirundi mu-sanvu, naye okutuusa ku miru-ndi nsanvu emirundi musanvu.23N’olw’ekyo obwakabaka bw’e-ggulu bufanana nga kabakaeyayagala okukaanya n’abaddube. 24Awo bwe yatandika oku-kikolako ne bamuleetera gweyali abanja ttalanta olukumi.25Naye bwe zaamulema okusa-sula, mukama we n’alagira ntibamutunde, ne mukazi we eran’abaana ne byonna bye yali-na, alyoke asasulwe. 26Awoomuddu n’afukamira wansi,n’agamba nti, ‘mukama wange,

ngumiikiriza, ndikusasula byo-nna.’ 27Awo mukama w’omudduoyo n’akwatibwa ekisa, n’amu-sonyiwa ebbanja n’amulekan’agenda. 28Naye omuddu oyobwe yali afuluma n’asisinkanamuddu munne gwe yali abanjadinali kkumi; n’amukwataamataayi ng’amugamba nti,‘Nsasula mangu!’ 29Bw’atyomuddu munne n’afukamiran’amwegayirira, ng’agambanti, ‘Ngumiikirizako, ndiziku-sasula zonna.’ 30Naye teyamu-sonyiwa, yamukwata n’amu-twala mu kkomera bamusibeokutuusa lw’alimusasula. 31Awobakozi banne bwe baalababyonna ebyaliwo, ne bana-kuwala nnyo, ne bagenda nebategeeza ku mukama wabwemunnabwe bye yakola. 32Awomukama wabwe kwe kumuyitan’amugamba nti, ‘Ggwe omu-ddu omubi! Nnakusonyiwaebbanja lyonna kubanga wa-nneegayirira. 33Nawe wali to-sobola kukwatirwa kisa mu-ddu munno, nga nange bwenakusaasira?’ 34Mukama weyasunguwala nnyo, n’amuwaa-yo bamubonyebonye okutuusang’asasudde byonna ebyali bi-mubanjibwa. 35Bw’atyo Kita-

Essomo lino lituyigiriza ebintu bingi1. Okukalaatira “okutuusa ku nsanvu emirundi musanvu” kye

batugamba ekiraga nga okusonyiwa tekuteekwa kukoma.2. Omuddu eyalina ebbanja lya kabaka omutwalo gwa

ttalanta omulamba eryo lyali bbanja ddene nnyo! Ttalantaemu yokka nga ebeeramu ensimbi nnyingi. Kati nga ebbanjaly’omuddu oyo olikubisamu emirundi mutwalo! Kyandibaddekintu kizibu nnyo omuddu oyo okusobola okusasula ebbanjalya kabaka.

3. Omuddu bwe yasaba kabaka okumugumiikiriza, kabakayalaga okwagala kwe okungi bwe yamusonyiwa ebbanja lyonna!

4. Omuddu ono yalaga obutasiima bwe baamukolera ekiko-lwa eky’ekisa, ye bwe yagenda okubanja muddu munne ebi-tono bye yali amubanja. Mu nsimbi za Roma, eddinali ekikumitezaali nsimbi nyingi. Omuddu oyo teyali mwenkanya kukwatamuddu munne mataayi ng’amubanja! Katonda ebikolwa byaffebyonna abiraba, era yakiraba nga omuddu oyo muddu munneteyamuyisa bulungi nga ye bwe baamuyisa!

5. Omuddu eyasooka teyawuliriza kwegayirira kwa musa-jja oli omwavu, yamukwata bukwasi n’amuteeka mu kko-mera asibibwe okutuusa lw’alizisasula. Bw’aba nga tekya-mwanguyira kusasula nga ssi musibe, mazima ddala ngakigenda kuba kizibu nnyo okusasula ng’ali mu kkomera.

6. Kabaka baamutegeeza ku kikolwa ekyo ekibi. Ekyokabaka ne kimusunguwaza nnyo kubanga yalaba nga omu-ddu oyo bwe yasonyiyibwa teyasiima. Omuddu oyo nayeyandibadde ng’afuna omutima ogwagala okusonyiwa abobonna be yali abanja!

7. Olw’ensonga nti omuddu omubi yagaana okusonyiwamunne, naye mwene yali ateekwa kusibibwa era abonere-zebwe okutuusa lw’alisasula ebyo kabaka bye yali amubanja.

nge bw’alikola buli omu kummwe, atasonyiwa byonoono

bya muganda we mu mutimagwe.”

35

36

8. Yesu yagamba nti naffe tugenda kukolebwa bwe tutyobwe tugaana mu mitima gyaffe okusonyiwa abalala.

9. Ekigambo kya Katonda kituyigiriza mu Abaruumi 3:23 ntifenna twayonoona “Kubanga bonna baayonoona ne ba-tatuuka ku kitiibwa kya Katonda.” Twali nga tetusobola ku-sasula bbanja lyaffe ery’ebibi nga tuli bonoonyi mu maaso gaKatonda. Naye Yesu, omutukuvu atuukiridde era atalina kibi,yajja n’atufiirira kwe kwali okusasula ebbanja olw’ebibi bya-ffe. Yatusumulula n’atufuula ba ddembe! 1 Yokaana 3:5 atu-gamba bw’ati: “Era mumanyi nga yalabisibwa okujjawoebibi byaffe, era mu Ye temuli kibi kyonna.”10. N’olw’ekyo, olw’ensonga nti Katonda atusonyiwa ebibi byaffe

ku lwa Yesu era n’abijjirawo ddala, Ayagala naffe abalala tuba-sonyiwe byonna bye batusobya. Bwe tusonyiwa abalala, tubatulaga Katonda nga bwe tulina mu mitima gyaffe okusiimaolw’okusonyiyibwa ebibi byaffe ne tufuuka ba ddembe.

Bye Tulina Okujjukira

Okusasula ekibi olw’obu-lungi kintu kya mutawaana

nnyo era kibi; okujjukira eki-rungi olw’obulungi abangikye basinga okukola; nayeokusasula obulungi olw’eki-bi; kwe kufanana ne Mukamawaffe Yesu Kristo. Yesu yasa-bira abalabe be na bali abaalibamubonyabonya. Mu Lukka23:34b, tusoma essaalaYesu gye yasaba: “Kitangebasonyiwe, kubanga teba-manyi kye bakola.”

ESSOMO 17. OMUSAJJA OMUGAGGAOMUNAKUWAVU

Matayo 19:16-2616Era laba, omu n’ajja n’a-

mugamba nti, “Omuyigiriza O-mulungi, nkole ntya nsobole

37

okusikira obulamu obutagwaa-wo?” 17Naye n’amugamba nti,“Ompitira ki omulungi? Omu-lungi ali omu yekka, Ye Kato-nda. Naye bw’oba nga oyagalaokutuuka mu bulamu obuta-ggwaawo, tuukirizanga ama-teeka.” 18N’amuddamu nti, “Ga-liwa?” Yesu n’amugamba nti,“Tottanga; toyendanga; tobba-nga; tolimbanga; 19Bazadde boobassangamu ekitiibwa era oya-galanga muliranwa wo nga bweweeyagala wekka.” 20Omuvu-buka n’amugamba nti, “Ebyobyonna mbadde nga mbye-kuuma okuviira ddala mu butobwange, kiki kye mpeebuu-

kako?” 21Yesu n’amugamba nti,“Bw’oba nga oyagala okutuu-kirira, genda otunde by’olinabyonna ogabire abaavu, kaleoliba n’eby’obugagga mu ggu-lu; ojje ongoberere.” 22Naye o-muvubuka bwe yawulira ebyo,n’avaawo n’agenda nga ana-kuwadde kubanga yalina eby’o-bugagga bingi. 23Awo Yesu n’a-gamba abayigirizwa be nti,“Mazima ddala mbagambanti, kizibu nnyo omugaggaokuyingira mu bwakabakaobw’eggulu. 24Nate mbagambanti, kyangu eng’amira okuyitamu nnyindo y’empiso okusingaomugagga okuyingira mu bwa-kabaka bwa Katonda.” 25Aba-yigirizwa be bwe baabiwulirane bawuniikirira nnyo, ne ba-gamba nti, “Kale ani aliloko-ka?” 26Naye Yesu n’abatunuuli-ra n’abagamba nti, “Kino teki-soboka eri abantu naye eri Ka-tonda byonna biyinzika.”

Eby’okukolaA. Wandiika wammanga awo ebiragiro bitaano kw’ebyoYesu bye yagamba omuvubuka okubyekuumanga.

1.____________________________________________2.____________________________________________3.____________________________________________4.____________________________________________5.____________________________________________

Page 11: A bible study on matthew luganda

38

B. Ebibuuzo bino wammanga biddemu nti YEE oba NEDDA.Eky’okuddamu kyo kiwandiike awo awali omusittale.

1.Omuvubuuka yagamba nti yeekuumanga amateeka go-nna? _________________ (20)

2. Yesu yagamba nti omuvubuka oyo bw’aba nga ayagalaokutuukirira agende atunde byonnna bye yali alina?_____________________ (21)

3. Omuvubuka ono ensimbi ze yali alina kuzigabira baga-gga? ________________ (21)

4. Yesu omuvubuka yamuyita ajje amugoberere? __________________________ (21)

5. Omuvubuka ono yagoberera Yesu? __________________________________________________________(22)

6. Omuvubuka ono yavaawo nga musanyufu? _________________________________________________ (22)

ESSOMO 18. YESU ATEGEEZA EBIGE-NDA OKUMUTUUKAKO NGAEKISEERA TEKINATUUKA

Matayo 20:17-1917Awo Yesu n’ayambuka oku-

genda e Yerusalemi era yali wa-mu n’abayigirizwa be ekkumi

n’ababiri, awo bwe baali ngabatambula n’abategeeza ebiga-mbo bino, 18“Laba, twambukaokugenda e Yerusalemi, era O-mwana w’Omuntu balimulya-mu olukwe ne bamuwaayo mumikono gya bakabona abakulu

n’abawandiisi; era balimusaliragwa kufa, 19era balimuwaayo mumikono gy’ab’amawanga oku-muduulira n’okumubonyaabo-nya era n’okumukomerera na-ye ku lunaku olw’okusatu ali-zuukira.”

Okufa kwa Kristo Tekwajja lwa ButanwaEkiseera kya Yesu okukomererwa kyali nga tekinatuuka

naye Yesu n’ategeeza ku bayigirizwa be ebyo ebyali bigendaokumutuukako. Okufa kwe yafiira ku musalaba kyali kitundu kunteekateeka Ye ey’okutulokola mu bibi byaffe. Yokaana Essuu-la 3, enyiriri 14 ne 15, atugamba bw’ati: “Era nga Musa bweyawanika omusota mu ddungu, n’Omwana w’Omuntubw’atyo bw’ateekwa okuwanikibwa, buli amukkiriza alemeokubula naye abeere n’obulamu obutaggwaawo.” Buli ki-nn’omu ku ffe yandibadde ng’asiima nnyo okufa kwa Yesu kweyatufiirira. Si nsonga langi ki ey’olususu oba eggwangagy’abeera. BONNA YABAFIIRIRA. (LABA 2 Abakkolinso 5:15.)

Ekigambo “buli” kitegeeza ggwe oba omulala yennaakkiriza! BW’OBA nga okkiriza nti Yesu yafa ku musalabaAKULOKOLE okuva mu bibi BYO, olwo GGWE ofuna O-BULAMU OBUTAGWAAWO!

“Kubanga Katonda bwe yayagala ensi bw’ati,n’okuwaayo n’awaayo Omwana we eyazaalibwa omu

yekka, buli muntu yenna amukkiriza aleme okubula, nayeabeere n’obulamu obutaggwaawo.” —Yokaana 3:16a

ESSOMO 19. KRISTO ATWALIBWA

11Awo Yesu n’ayimirira mumaaso ga ow’essaza. Ow’essazan’amubuuza nti, “Ggwe kabaka

w’Abayudaaya?” Yesu n’adda-mu nti, “Nga bw’oyogedde.”12Awo bakabona abakulu n’a-

Matayo 27:11-26

39

40

bakadde ne bamuloopa mubigambo bingi naye Ye teyaya-nukula kigambo kyonna. 13AwoPilaato n’amugamba nti, “To-wulira ebyo byonna bye baku-lumiriza?” 14So teyamuddamukigambo kyonna, ow’essaza neyewuunya nnyo. 15Yali nkolayabwe buli ku kuyitako ngababateera omu ku basibe gwebaali basazeewo okubateera.16Awo ne babateera Balabaeyali omutemu. 17Awo bwe baa-kung’ana Pilaato n’ababuuzanti, “Mbateere ani? Balaba obaYesu gwe bayita Kristo?” 18Ku-banga yakimanya nga baa-muwaayo lwa bujja. 19Bwe ya-tuula mu ntebe ye esalirwamuemisango, mu-kyala we n’amu-tumira ng’agamba nti, “O-muntu oyo omutuukirivu to-mukola kintu kyonna, kubanganalumiddwa nnyo bwe nnamu-loose nga nneebase.” 20Naye

bakabona abakulu n’abakaddene bawaliriza ebibiina okusabababateere Balaba, bazikirizeYesu. 21Naye ow’essaza n’adda-mu n’ababuuza nti , “ku banobombi ani gwe mwagala okuba-teera?” Ne bagamba nti “Bala-ba.” 22Pilaato n’abagamba nti,“kale naakola ntya Yesu oyogwe bayita Kristo?” 23Bonna nebagamba nti Akomererwe.24Naye Pilaato bwe yalaba ngataasobole kugumiikiriza luyoo-gaano, n’addira amazzi n’ana-aba mu ngalo nga bonna bala-ba n’abagamba nti, “Nze ssiri-iko musango lwa musaayigw’omuntu ono omutuukirivu;musango gwammwe.” 25Abantubonna ne baddamu nti “Omu-saayi gwe gubeere ku ffe, ne kubaana baffe.” 26Awo n’abasu-mululira Balaba naye Yesu nebamukuba n’embooko n’amu-waayo bamukomerere.

41

Eby’okukolaWammanga awo waliwo ebibuuzo by’olina okuddamu nga

eby’okuddamu obisanga mu ssomo 19. Essomo ddamu nateolisome, olwo ojjuzemu mu mabanga.

1. Yesu bakabona abakulu n’abakadde bwe baamuloopayaddamu nti, ___________________ (12).

2. Kino ow’essaza kyamwewuunyisa______ _______ (14).3.Balaba lyali linnya lya musajja eyali ______________(16).4. Ani gwe baabateera? _______________________ (26).5. Abantu baagamba nti Yesu ___________________(22).

ESSOMO 20. YESU BAMUTIKKIRAENGULE EY’AMAGGWA

za ne batwala Yesu mu kifoawasalirwa emisango, (kyayi-tibwanga Purayitoriyo) era aba-ntu bangi ne beekung’anya.28Ne bamwambulamu engoye zene bamwambaza olugoye olu-myufu. 29Ne baluka engule ey’a-maggwa, ne bagimutikkira kumutwe, ne bamukwasa n’olu-muli mu mukono gwe ogwaddyo. Ne bamufukamirira nebatandika okumuduulira ngabagamba nti, “Mirembe Kaba-ka w’Abayudaaya!” 30Ne bamu-wandira amalusu, ne bamuku-ba olumuli ku mutwe.

Matayo 27:27-3027Awo abaserikale b’ow’essa-

Engeri gye Baayisamu YesuEbintu ebizibu ennyo abasajja abakambwe bye baakola

Page 12: A bible study on matthew luganda

42

Kristo mu nsi muno, naffe biyinza okututuukako. Abasajjaabakambwe tebayagala Katonda. Tebayagala Yesu Kristo erayatutegeeza ebikwata ku nsonga eyo mu Yokaana, essuula15, enyiriri 18-20a; “Ensi bw’ebakyawanga, mumanye ngayasooka kukyawa Nze. Singa mubadde ba nsi, ensi ya-ndibadde eyagala ekyayo. Naye olw’okuba nga temuli bansi, ky’evudde ebakyawa. Mujjukire ebigambo bye nna-bagamba, ‘Omuddu tasinga mukama we.’ Nga bwe baa-njigganya Nze, nammwe bagenda kubayigganya.” Yesualina ekyama ekikulu eky’okugabanako naffe mu Yokaana16, olunyiriri 33; “Ebintu bino mbibabuulira, mulyoke mu-beere n’emirembe gyange. Mujja kulaba ebizibu bingi munsi, naye mugume kubanga nze mpangudde ensi.”

Eby’okukolaWammanga awo waliwo ebibuuzo by’olina okuddamu nga

eby’okuddamu obisanga mu ssomo 20. Ddamu nate obi-some, olyoke ojjuzemu mu mabanga.

1. Abaserikale baayambula Yesu engoye ze ne bamwa-mbaza ___________________ ekimyufu (28).

2. Baaluka engule _________ ____________ ne bagitee-ka ku ___________________________ (29).

3. Yesu baamuduulira bwe baamufukamirira ne bamuga-mba nti, “Mirembe _________________ w’Abayudaaya” (29).

4. _______________________ ku mutwe ne bakozesa_______________________ ne bamukuba ku mutwe (30).

ESSOMO 21. YESU ATTIBWA

31Awo bwe baamala okumuku-ba n’okumuduulira, ne bamu-jjamu ekyambalo kye baali ba-

mwambazza ne bamwambazaengoye ze, ne bamutwala oku-mukomerera. 32Awo bwe baali

43

nga bamufulumya, ne basisi-nkana omusajja ow’e Kuleene,eyayitibwanga Simooni. Oyo nebamuwaliriza okwetikka omu-salaba. 33Bwe baatuuka mukifo ekiyitibwa Gologosa, ama-kulu gaakyo, Ekifo ky’Eki-wanga, 34ne bamuwa omwengeomukaatuufu nga baguta-budde mu by’okunywa ebirala.Naye bwe yagulegako, n’ata-sobola kugunywa. 35Awo ne ba-mukomerera, ne bagabana engo-ye ze nga bazikubira akalulu,ebyawandiikibwa bituukirireebyayogerwa banabbi nti: “Ba-agabana ebyambalo byange eraolugoye lwange ne balukubiraakalulu.” 36Ne batuula wansi nebamutunuulira. 37Waggulu kumutwe gwe ne bateekawo eki-wandiiko ekigamba nti: ONOYE YESU KABAKA W’ABA-

YUDAAYA. 38Awo ne bamuko-merera n’abanyazi abalala ba-biri omu ku mukono gwe ogwaddyo n’omulala ku mukonoogwa kkono. 50Yesu bwe yaa-kowoola mu ddoboozi eddene,n’ata omwoyo gwe. 51Era labaejjiji lya yekaalu ne liyulikamuwabiri okuva waggulu okutuu-ka wansi ne wabaawo ekika-nkano kinene era n’enjazi nezaatika, 52entaana ne zibikku-ka, abatukuvu bangi abaafa nebazuukira. 53Bwe baava muntana zabwe ne bagenda nebeeraga eri abantu mu kibugaekitukuvu. 54Awo omukulu w’e-kitongole n’abo abaali naye,abo abaali bakuuma Yesu, nebalaba okukankana ne byonnaebyaliwo, ne batya nnyo ne ba-gamba nti, “Mazima ddala onoabadde Mwana wa Katonda!”

44

Yali Ani?1. Ani gwe baawaliriza okwetikka omusalaba gwa Yesu?

____________________________________________ (32).2. B’ani be baakomerera awamu ne Yesu, omu ku mukono

gwe ogwa ddyo, n’omulala ku mukono ogwa kkono?__________________ (38)

3. Omukulu w’abasibe n’abantu abaali naye nga balabaebigenda mu maaso bwe baalaba ekikankano n’ebintu ebi-rala byonna Yesu bye yakola, baagamba nti yali ani?_________________ ____ _____________________(54)

ESSOMO 22. YESU AZIIKIBWA

Matayo 27:57-6657Bwe bwatuuka akawungee-

zi; omusajja omugagga n’ajjang’ava Alimasaya era yayiti-bwanga Yusufu, era naye yalimuyigirizwa wa Yesu. 58Omusa-jja oyo n’agenda eri Pilaato

n’asabayo omulambo gwa Yesu,era Pilaato n’alagira ne bagu-muwa. 59Yusufu bwe yatwalaomulambo n’aguzinga mulu-goye olweru, 60n’aguzazika muntaana gye yabajja mu lwazi;n’ayiringisa ejjinja eddene n’a-liteeka ku mulyango gw’e-ntaana n’avaayo. 61Era Malya-mu Mangadaleena ne Malyamuomulala nabo baaliyo nga ba-tudde awo ku mabbali g’e-ntaana. 62Ku lunaku olwaddi-rira, lwe lunaku oluddiriraolw’okutegeka, bakabona aba-kulu n’Abafalisayo ne baku-ng’anira ewa Pilaato, 63ne ba-mugamba nti, “Ssebo tujjuki-dde, omulimba oyo bwe yaling’akyali mulamu bye yayo-

45

gera, ng’agamba nti; ‘oluva-nyuma lw’ennaku ssatu ndizu-ukira.’ 64N’olw’ekyo lagira enta-ana bagikuumire ddala okutuu-sa ku lunaku olw’okusatu, sikulwa nga abayigirizwa bebajja ekiro ne babbamu omu-lambo gwe ne bagamba nti‘yazuukidde okuva mu bafu.’

Bwe kityo obulimba obw’olu-vanyuma bulisinga buli obwa-sooka.” 65Pilaato n’agamba nti,“mulina abakuumi; mugendemugiteekeko abakuumi ngabwe mumanyi.” 66Awo ne bage-nda entaana ne bagiteekakoabakuumi nga n’ejjinja balita-ddeko envumbo.

Okwagala Yusufu kwe yalina eri KristoYusufu, omusajja omugagga, yayagala Yesu era ne yee-

waayo okumuziika, mu ntaana eyiye ku bubwe gye yaliyeetegekedde. Mukama we omwagalwa bwe yalaba ng’afu-dde, n’asalawo okumuwummuliza omwo. Omuntu alina okwa-gala kwa Yesu okutuufu tayinza kuba nga yeeyagalizayekka. Bulijjo okwagala kitegeeza kugabana. Bw’obeera n’o-kwagala, onoonyereza engeri gy’oyinza okubeera omu-weereza. Oyagala Yesu? Wazuula dda engeri gy’oyinzaokumuweerezamu? Kiki ky’okola ku lwa Yesu?

Yesu yawaayo obulamu bweYesu, mu kwagala kwe Ye, yawaayo obulamu bwe atulo-

kole ggwe nange mu bibi byaffe. Yali alina kuyiwa musaayigwe omutukuvu n’afa alyoke asasule omutango olw’ebibibyaffe. Abaebbulaniya 9:22 atugamba nti awatali kuyiwa mu-saayi tewali kujjawo bibi. Yesu yafuuka ssaddaaka etuuki-ridde kubanga Ye mwene teyaliiko kya kunenyezebwa kyo-nna. Yokaana 1:29b atugamba nti; “Laba! Omwana gw’e-ndiga owa Katonda Ajjawo ebibi by’ensi!” Tewali muntumulala yenna yandisobodde kufa ku musalaba kujjawo bibibyaffe, era tewali kirala kyonna nga zaabu oba feeza obaente yadde ensolo endala yonna oba ekintu ekiramuekyandiyinzizza okujjawo ebibi byaffe. Laba Peetero, essuu-la 1, enyiriri 18 ne 19: “Kubanga mumanyi nga temwa-

Matayo 27:31-38 n 50-54

Page 13: A bible study on matthew luganda

nunulibwa na bintu ebiggwaawo, ffeeza oba zaabu,… wa-bula omusaayi ogw’omuwendo omungi, nga ogw’omwa-na gw’endiga ogutaliiko bulema newakubadde ebbala yeKristo.”

Tutegeera tutya nga Yesu yawaayo obulamu bwe lwa kwa-gala kwe? Yokaana 10:18a agamba nti: “Tewali abunzijako,naye mbuwaayo nzekka. Nnina obuyinza obubuwaayo,era nnina obuyinza obw’okubweddiza nate.” YESU ALI-NA OBUYINZA BWONNA! Laba ne Matayo 28:18.

Yesu bwe yayimirira mu maaso ga Pilaato alyoke akome-rerwe, Pilaato yali alowooza nti yalina obuyinza obumu-komerera oba obumusumulula n’amuta. Naye weetegerezeebigambo bya Yesu ebiri mu Yokaana 19:11a “Yesu n’a-ddamu nti ‘Tewandibadde na buyinza bwonna ku nze; si-nga tebwakuweebwa kuva waggulu.’ ”

Kristo yawaayo obulamu bwe ku lw’ensi zonna, era abo bonnaokuva mu buli nsi na buli ggwanga bwe bakkiriza Yesubalokolebwa. Kakasa nga OLI omu kw’abo ABAKKIRIRIZA muMUKAMA YESU! Soma Okubikkulirwa 5:9: “Ne bayimba oluy-imba oluggya, nga boogera nti, ‘Osaanidde okukwataekitabo okubembula obubonero bwakyo; kubanga watti-bwa, n’otununula okutukomyawo eri Katonda ku lw’o-musaayi gwo mu buli kika n’olulimi n’abantu n’eggwanga.’”

Abalabe ba Yesu Bagezako Okumulemezayo mu Ntaana

Bakabona abakulu n’Abafalisaayo abaali abalabe ba Yesu,baayagala okulabira ddala nga entaana ekuumibwa nnyowaleme okubaawo omuntu n’omu ajjayo Yesu mu ntaana.Kino kitulaga nga okuzuukira kwa Yesu kwa kyewuunyonnyo. Kitulaga bulungi nga baakifuula ekitasoboka kujjayoYesu mu ntaana! Era n’abakuumi baateekebwa ku ntaanabalabire ddala ekigenda mu maaso. Mu ssomo 23, tujja ku-laba eky’amagero nga kibeerawo!

46 47

Emikono Egy’entiisa“Lwaki mujaguliza Kalavaliyo?” ekibuuzo ekyo omuntu

eyalabika okukirowoozako nga ekitali kya buntu ye yakibuu-za mu biseera si bya wala nnyo. Era yalabika nga ekibuuzoekyo kyali kimuzitoweredde nnyo. Yang’amba nti, “Kirowoo-zeeko,” okujaguliza okukomerera okw’Ekirooma; okuttibwakwonna, omuntu yamalanga kuzza musango ne gumume-gga. Omusalaba baagugalamizanga ku ttaka, ne bateekakoomuzzi w’omusango, ne bamukomereramu emisumaali mungalo ne mu bigere gusobole okumunywereza kuli. Olwo nebalyoka bayimusa omusalaba nga bagusimidde ekinnyamwe bagusimba okutuusa omubi lw’afa. Era okwo kwe ku-jaguza kw’Abakristaayo nga basembera ku mmeeza entuku-vu oba kye bayita Ekyeggulo kya Mukama waffe. Mba-tegeeza ekyo ekintu si kya buntu, kizibu nnyo siraba na ngerigye kiyinza kunnyonnyolwamu.”

“Aha, mukwano gwange,” ne muddamu, “Ekintu okirowoo-zako nga tomaze kulowooza ku nsonga lwaki kyakolebwa.Olemeddwa okukikwataganya obulungi n’oli eyakomererwa.Leka nkutegeeze ku kintu ekimu ekyaliwo kye nnawulirako.”

“Waaliyo omukazi omulungi, naye nga emikono gye gyale-mala era nga gitiisa nnyo. Waayitawo emyaka mingi ngamuwala we yeebuuza lwaki emikono gya maama we gyaligifaanana bwe gityo era n’aba nti tayagala na kugitunulakonga gimukwasa ensisi; lwali lumu n’agamba bw’ati:

“Maama, obwenyi bwo mbwagala, amaaso go, n’enviiri zo.Birungi nnyo naye nnyabo, emikono gyo nga mibi nnyo erasaagala na kugitunulako. Lwaki gyakyama bwe gityo mungeri ey’entiisa?”

“Mpuliriza mwana wange, bw’atyo bwe yamuddamu. ‘Ka-nkubuulire ekyatuuka ku mikono gyange. Bulijjo mbadde ngasaagala kukubuulira, naye kiba kirungi n’okitegeera.Kaakano emyaka giweze nga kkumi. Bwe waali nga okyali

48

muto nnyo—nnali nkwagala nnyo, naye nga kati lwe nsingaokukwagala. Wali olina emyezi esatu gyokka. Ku makyakw’olwo, nnalina eby’okukolako bingi. Bwe nnamala oku-kuwa eby’okulya, ne nkuzazika ne ng’enda mu ffumbiro nayeera nga mpuliriza okuwulira kyonna ekiyinza okukutuukako.Ssaalwayo nnyo, naye nga nnalwayo okusinga nga bwennali nkirowooza.

“Nnagenda okuwulira nga waliwo ampita ne ntunulaebweeru; ng’abantu baleekaana nti omuliro. Ne nziruka oku-va mu ffumbiro okuyita mu lukuubo. Nnagenda okulaba ngaoluggi lw’emiryango lwaka omuliro era omuliro gwali gwamaanyi nnyo. Baliraanwa ne bajja okutuyamba. Olwo ngaomuliro gutandise okwambuka waggulu. Nnabunira era ngasikyavaamu kigambo kyonna. Mu lukuubo nga waliwo esuu-ka ennene elengejja okuva waggulu, nengibaka ne njezi-ngirira mu maaso ne ku bibegabega ne nneyongerayo, nempita mu muliro ne nkuwalulayo ne nkuzinga mu ssuukaz’okubuliri, ne nkuteeka mu kifuba kyange, ne nziruka ngankukutte ne nfuluma mu nnyumba. Omutwe gwange, amaa-so n’ebibegabega byo byaawona, naye emikono n’ebibatuomuliro gwabyookya enyama n’eggwa ku magumba. Lunolwe lugero lw’emikono gyange era lwaki mibi nnyo.

“Kaakano laba ebigambo by’omuwala oyo. Yali mwana ngayazaalibwa buzaalibwa. Teyaliiko kisobyo kyonna. N’abakaemikono gya maama we egitiisa, n’agikwata n’engalo zeennungi ennyo, n’aginywegera n’emimwa gye emirungi n’a-tunuulira maama we mu maaso n’amugamba nti, ‘Oh maa-ma! Obwenyi bwo mbwagala, amaaso go, ensingo yo, envii-ri zo, naye emikono gino emyagalwa gye nsinga okwagala.’Era mu ngeri nga eyo, tuyinza okulowooza ku kufa kwa Yesue Kalavaliyo.” —Tubyeyazise ku Presbyterian Banner

49

Bye Tulina Okukolera Katonda1. Tuteekwa okwatulira Kristo ebibi byaffe ne tusonyiyibwa

(1 Yokaana 1:9).2. Tuteekwa okukkiriza Yesu Kristo ne tulyoka tulokolebwa

(Ebikolwa 16:31).3. Tuteekwa okwagala Katonda n’omutima gwaffe gwonna,

n’emmeeme yonna, n’endowooza yonna (Matayo 22:37).4. Tuteekwa okwatula Kristo, nga Ye Mwana wa Katonda

mu maaso g’abantu (Matayo 10:32).5. Tuteekwa okutambulira mu bulamu obusanyusa Kato-

nda (1 Abasessaloniika 4:1).

ESSOMO 23. YESU AVA MU BAFU

Matayo 28:1-101Naye olunaku olwa Ssabiiti

bwe lwali lugenda okuggwaa-ko, ng’olunaku olubereberye munnaku omusanvu lunaatera oku-kya, Malyamu Mangadaleenene Malyamu omulala ne bajjaokulaba entaana. 2Era laba, ne

wabaawo ekikankano ekineneku nsi, kubanga malayika waMukama yakka okuva mu ggu-lu n’ajja n’ayiringisa ejjinjan’alituulako. 3Naye ekifaananyikye kyali nga kumyansa, n’en-goye ze zaali zitukula nga omu-zira: 4era entiisa ye n’ekanka-nya abakuumi, ne baba ngaabafudde. 5Naye malayika n’a-ddamu n’agamba abakazi nti,“Mmwe temutya: kubanga mma-nyi nga munoonya Yesu eya-komererwa. 6Tali wano azuuki-dde nga bwe yagamba. Mujjemulabe ekifo Mukama we ya-galamira. 7Mugende mangu,mubuuulire abayigirizwa be ntiAzuukidde mu bafu; era aba-kulembedde okugenda e Gali-raaya, eyo gye muli mulabira.Laba mbabuulidde.” 8Ne bava

Page 14: A bible study on matthew luganda

50

mangu ku ntaana n’entiisan’essanyu lingi, ne baddukaokugenda okutegeeza abayigi-rizwa be. 9Laba, bwe baali ngabagenda Yesu n’abasisinkanan’abagamba nti, Mirembe. Ne

bajja ne bamukwata ku bigerene bamusinza. 10Awo Yesu n’a-bagamba nti, “Temutya: muge-nde mubuulire baganda bangebagende e Galiraaya gye bali-ndabira.”

Eby’okukolaBw’omala okusoma Essomo 23, nga ojjuzamu mu maba-

nga ekigambo ekituufu.1. Malayika wa Mukama yakka okuva mu ggulu n’ayiringi-

sa ____________________ (2). Ebyambalo bye byalibitukula nga _________________________ (3).

2. Abakuumi baatya nnyo ne bakankana ne bafaanana nga___________________________ (4).

KRISTO YAWANGULA okufa n’amagombe, n’entaanatulyoke tubeere balamu nate! Agamba mu Yokaana 14:19bnti, “Kubanga Nze ndi mulamu, nammwe muli balamu.”Agamba mu Yokaana 11:25b ne 26a nti, “Nze kuzuukiran’obulamu. Akkiriza Nze, newakubadde ng’afudde alibamulamu. Na buli muntu mulamu akkiriza Nze talifa emi-rembe n’emirembe.”

ESSOMO 24. EBIGAMBO BYA YESU EBYASEMBAYO

Matayo 28:16-2016Naye abayigirizwa ekkumi

n’omu ne bagenda e Galiraaya,ku lusozi Yesu gye yabalagira.17Bwe baamulaba ne bamusi-nza: naye abalala ne babuusa-buusa. 18Yesu n’ajja n’ayogeranabo, n’agamba nti, “Mpeere-ddwa obuyinza bwonna muggulu ne ku nsi. 19Kale muge-

51

nde, mufuule amawanga gonnaabayigirizwa, nga mubabatizaokuyingira mu linnya lya Ki-taffe, n’Omwana, n’OmwoyoOmutukuvu; 20nga mubayigi-

riza okukwata byonna bye nna-balagira mmwe; era laba, nzendi wamu nammwe ennaku zo-nna, okutuusa emirembe ginolwe giriggwaawo.” Amiina.

Bwe tubeera n’omwagalwa waffe nga anaatera okufa, twe-gomba nnyo okutwala era tuyaayaanira okuwulira ebigambobye ebisembayo. Ebigambo ebisembayo tetubyerabira ebyoebyogerwa mukwano gwaffe nga tannaba kufa era bibeerabikulu nnyo gyetuli! Ebigambo ebirala eby’oluvanyuma ebyaYesu, mulokozi waffe, bwe yali nga tannaba kuddayo muggulu bye bino: “Mugende mu nsi zonna mubuulire enjirieri buli kitonde” (Makko 16:15b).

Ofuba nga bw’osobola okutwala ebigambo bya Yesu binoebyasembayo?

Lwaki Kitugwanidde Okubuulira ku Balala?Ebikolwa 4:12 agamba nti: “Tewali mu mulala bulokozi,

kubanga tewali linnya ddala wansi wa ggulu eryatuwee-bwa okutulokola.” Kino kiraga nga YESU LY’ESSUUBI lyo-kka lye tulina ku lw’obulamu obutagwaawo!

Yokaana 14:6 agamba nti: “Yesu n’amugamba nti, ‘Nzekkubo, n’amazima, n’obulamu. Tewali n’omu ajja eri Ki-tange wabula nga ayise mu Nze.’ ” Era tukiraba nga YESUly’e KKUBO lyokka erituuka eri KITAFFE!

Ekigezo ky’Omugoberezi OmutuufuYesu agamba nti: “Bwe muba nga munjagala, muna-

kwatanga amateeka gange” (Yokaana 14:15). Etteeka eri-sooka era erisinga obukulu tulisanga mu Matayo 22:37b.Likolera wamu n’emirimu gye tulina okukolera Katonda. Lyelino: “Yagalanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwo-nna, n’emmeeme yo yonna, n’amagezi go gonna.” N’e-tteeka ery’okubiri lirina kugenda ne bye tulina okukola kulw’abantu bannaffe wonna wonna. “Yagalanga muliranwa

52

wo nga bwe weeyagala wekka” (Matayo 22:39b). “Ku ma-teeka gano abiri kwe kusinziira Etteeka lyonna ne bana-bbi” (Matayo 22:40).

ESSOMO 25. YESU AKOMAWO NATEBubonero ki Obulaga Okujja Kwe?

Soma essuula ya Matayo eya 24 olyoke ofune bulungiekifaananyi ekituufu eky’obubonero bw’okujja kwa Kristo.Wano wammanga waliwo ebimu ku bintu ebyayogerwako.

1. Bakristo bangi ab’obulimba balijja nga beeyita Kristo erane balimba bangi. Tetuteekwa kubagoberera (5, 23, 24 ne25).

2. Walibeerawo entalo n’ettutumu ly’entalo. Eggwanganga ligolokokera ku ggwanga, obwakabaka nga bulwanyisaobwakabaka (enyiriri 6 ne 7).

3. Walibeerawo okulumwa enjala, n’ebikankano mu bifobingi. Eyo ntandikwa butandikwa ey’okulumwa (enyiriri 7 ne8).

4. Abakristaayo baliweebwayo ne babonyabonyezebwa,okuttibwa, era n’okukyayibwa amawanga mangi kubangabe bayitibwa erinnya lya Kristo (lunyiriri 9). Kristo yajja munsi muno okubonaabona ku lwaffe, tulyoke tufune obulamuobutaggwaawo, kale olwo tuliba n’akakisa okukakasa okwa-gala kwaffe nga tubonyabonyezebwa ku lulwe.

5. Naye nno, Abakristaayo bangi bagenda kuyisibwa bubiera balekere awo okugoberera Kristo. Bagenda kwogerabubi ku bannabwe nga babalyamu enkwe era bakyawagane(olunyiriri 10).

6. Banabbi bangi ab’obulimba bagenda kuvaayo, era ba-limberimbe bangi. Baliba nga baweereddwa obuyinzaokukola eby’amagero bingi n’obubonero ebyewuunyisa,

53

nga bagezako okulimbalimba n’abakristaayo abasingaobugumu (enyiriri 11 ne 24).

7. Walibeerawo okulya kungi, okunywa, okuwasa, n’okufu-mbiza era nga bwe kyali mu nnaku za Nuuwa bwe yali ku nsi(enyiriri 37-39).

8. Oluvanyuma lw’okubonaabona okungi, enjuba erifuukaekizikiza, omwezi nagwo nga tegukyayolesa kitangaala kya-gwo, emunyeenye ne zigwa okuva mu ggulu, n’amaanyi g’e-ggulu galinyeenyezebwa (olunyiriri 29).

Agenda Kujja Atya?1. Okujja kwe kuliba kwa mangu nnyo. Matayo 24:27 aga-

mba nti, “Nga okumyansa bwe kuva e buvanjuba nekulabikira e bugwanjuba; Bwe kutyo bwe kuliba okujjakw’Omwana w’Omuntu.”

2. Agenda kujjira mu bire by’eggulu n’amaanyi n’ekitiibwakingi. Matayo 24:30 atugamba ebikwata ku nsonga eyo.

3. “Buli liiso lirimulaba… ” Okubikkulirwa 1:7).4. “Kubanga Mukama waffe yennyini alikka okuva mu

ggulu n’okwogerera waggulu okw’eddoboozi eddene eryamalayika omukulu n’ekkondeere lya Katonda. Era aboabaafiira mu Kristo be balisooka okuzuukira. Naffe aba-lamu abasigaddewo ne tulyoka tutwalibwa wamu nabomu bire okumusisinkana Mukama waffe mu bbanga; kalebwe tutyo tunabeeranga ne Mukama waffe ennakuzonna. Kale mwesanyusenga n’ebigambo bino” (1 Aba-sessaloniika 4:16-18).

5. “Oyo Yesu abajjiddwako n’atwalibwa mu ggulu, ali-jja bw’atyo nga bwe mumulabye ng’atwalibwa mu ggulu”(Ebikolwa 1:11b).

Engeri Y’okwekuuma nga Twetegekedde Yesu“Naye bwe tutambulira mu kitangaala nga Ye bw’ali

ekitangaala, tubeera nga tussa kimu fekka na fekka, era

Page 15: A bible study on matthew luganda

54

omusaayi gwa Yesu Kristo Omwana we gutunaazaakoebibi byaffe byonna” (1 Yokaana 1:7).

Oyagala Okugenda mu Ggulu?Siiga ekifaananyi ky’omulenzi oyo ali mu kkubo ettuufu.

Zabbuli 86:5 — “Kubanga ggwe Mukama, oli mulungi,era osonyiwa era ojjudde ekisa eri abo bonna abakuko-woola.”

Yokaana 14:6 — “Yesu n’amugamba [Tomasi] nti, ‘Nzekkubo, n’amazima, n’obulamu. Tewali n’omu ajja eri Ki-tange okujjako ng’ayita mu Nze.’ ”

Engeri gye TutuukayoEddaala 1 — Funa Okunakuwala Olw’ebibi byo BYONNA

Waliyo akawala akagamba nti, “Okunakuwalira ebibikitegeeza okunakuwala ekimala n’otuuka n’obutabiddamu.”

Yokaana 14:6

55

Setaani akozesa emize emibi n’asibira abantu mu kibi.

Atusiba ku njegere tuleme okwefunira eddembe.

Jangu, enjegere ne byonna, bireete eri Yesu. Ajja kukuwaeddembe.

Eddaala 2 — Weenenye era Oyatulire Katonda1 Yokaana 1:9 — “Bwe twatula ebibi byaffe, Ye wa mazi-

ma era mwenkanya ayinza okutusonyiwa ebibi byaffen’atunaazako ebitali bya butuukirivu byonna.”

Yesu Mutegeeze Byonna — Ajja Kuwulira Essaala yo

56

Eddaala 3 — Mukkirize era Omusembeze mu Mutima Gwo ne mu Bulamu bwo

Ggulawo olugi lw’omutima gwo okkirize Yesu ayingire mumutima gwo KAAKANO!!

Okubikkulirwa 3:20a — “Laba nyimiridde ku lugi nko-nkona. Omuntu yenna bw’awulira n’aggulawo olugi, na-nge nnayingira gy’ali.”

Tujja kubeera n’obukakafu nti tuli babe bwe twenenyezaddala ne tukkiriza.

Abaruumi 8:16 — “Omwoyo Yennyini atujulira mu miti-ma gyaffe nti tuli baana ba Katonda.”

WAKKIRIZA Yesu Kristo nga Omulokozi wo?Okukola nga Ekigambo kya Katonda

1. Bwe tumala okwenenya ebibi byaffe, ne2. Nga tumaze okukkiriza Kristo nga Omulokozi waffe,3. Olwo — tuteekwa okukola nga ekigambo kya Katondabwe kigamba.

Tuteekwa okwekuuma nga tutambulira mu kitangaala ngatugoberera Yesu mu bulamu bwaffe obwa bulijjo. Soma 1 Yo-kaana, essuula 1, olunyiriri 7.

Goberera obutonyeze obwo ozuule ayinza okukutula enje-gere z’ekibi.

57

Eddaala 4 — Genda mu Maaso nga Otambulira mu Kristo buli Lunaku

Yokaana 8:31b ne 32 agamba bw’ati: “Bwe munywereraku Kigambo kyange, mubeera bayigirizwa bange ddala.Era mulimanya amazima, era n’amazima ge galibafuulaab’eddembe.”

Okusaba Katonda Buli Lunaku KijjaKutufuula ba Maanyi

Eby’okukolaSiiga emikono egyo egisaba okulaga kye tuteekeddwa

okukola tusobole okunywera ku lwa Katonda.

Page 16: A bible study on matthew luganda

58

Soma Ekigambo kya Katonda Buli LunakuTereka Ekigambo kye mu mutima gwo. Kwata mu mutwe

enyiriri nyingi nga bw’osobola.

Kristo Wamwetwalira dda okuba Omulokozi wo?Bw’oba nga wakikola dda, wandiika awo mu kifaananyi

ky’omutima erinnya lyo.

Abalala nabo bategeeze ebikwata ku Yesu ne byonna byeyakukolera.

59

EBINTU BYE TWETAAGAOKUMANYA

KATONDA YAKOLA ENSI YAFFE

Olubereberye 1:1-251Olubereberye Katonda yato-

nda eggulu n’ensi. 2Ensi yali yee-tabuddetabudde; n’ekizikiza kya-li kungulu ku buziba; Omwoyowa Katonda n’amaamira ku-ngulu ku mazzi. 3Awo Katondan’ayogera nti, “Wabeewo obu-tangaavu.” Ne wabaawo obuta-ngaavu. 4Katonda n’alaba ngaobutangaavu bulungi. Katondan’ayawula obutangaavu ku kizi-kiza. 5Katonda obutangaavun’abuyita Emisana, n’ekizikizan’akiyita Ekiro. Bwe kityo aka-wungeezi n’amakya ne luba o-lunaku olwasooka. 6Katondan’ayogera nti, “wabeerewo ebba-nga wakati mu mazzi, lyawuleamazzi n’amazzi.” 7Katonda

n’ateekawo ebbanga okwawulaamazzi agali wansi w’ebbangan’amazzi agali waggulu mubbanga: bwe kityo bwe kyali.8Katonda ebbanga n’aliyita e-ggulu. Ne buba akawungezi nebuba enkya, olwo lwe lunakuolw’okubiri. 9Katonda n’ayoge-ra nti, “Amazzi agali wansi w’e-ggulu gakung’anire mu kifoekimu, olukalu lulabike,” bwe ki-tyo bwe kyali. 10Katonda oluka-lu n’aluyita ensi, n’ekkung’a-niro ly’amazzi n’aliyita ennya-nja; Katonda n’alaba nga biru-ngi. 11Katonda n’ayogera nti,“Ensi emere ebimera, omuddoogubala ensigo, omuti gw’ebi-bala, ogubala ebibala mu ngeriyagwo ogulimu ensigo yagwo”;12Katonda n’alaba nga birungi.13Ne buba akawungeezi ne bubaenkya olwo lwe lunaku olw’o-kusatu. 14Katonda n’ayogeranti, “wabeewo ebyaka mu bba-nga ery’eggulu, byawulengaemisana n’ekiro: bibenga ng’o-bubonero, n’ebiro n’ennakun’emyaka; 15bibenga nga etta-baaza mu bbanga ery’eggulu

60

byakenga ku nsi”: bwe kityobwe kyali. 16Katonda n’akolaebyaka ebinene bibiri; ekyaakaekisinga obunene okufugangaemisana, n’ekyaka ekitono oku-fuganga ekiro era n’emunyee-nye. 17Katonda n’abiteeka mubbanga ly’eggulu byakenga kunsi 18bifugenga emisana n’e-kiro, era byawulenga obuta-ngaavu n’ekizikiza: Katondan’alaba nga birungi. 19Ne bubaakawungeezi ne buba enkya;n’olwo lwe lunaku olw’okuna.20Katonda n’ayogera nti, “ama-zzi gazaale ebyewalula bingiebirina obulamu era n’ekibuu-ka kibuuke ku nsi mu bbangaly’eggulu.” 21Katonda n’atondabalukwata abanene, na buliekirina obulamu ekyewalulaekyazaalibwa amazzi mu ngerizaabyo, na buli ekibuuka ekiri-na ebyoya mu ngeri yakyo. Ka-tonda n’alaba nga birungi.22Katonda n’abiwa omukisa

n’ayogera nti, “Mweyongeremwale mujjuze amazzi ag’omunnyanja, era n’ebibuuka bye-yongere mu nsi.” 23Ne buba aka-wungeezi ne buba enkya, olwolwe lunaku olw’okutaano. 24Ka-tonda n’ayogera nti, “Ensi eree-te ekirina obulamu mu ngeri ya-akyo, ente, n’ekyewalula, n’e-nsolo y’ensi mu ngeri yaayo”;bwe kityo bwe kyali. 25Katondan’akola ensolo y’ensi mu ngeriyayo, n’ente mu ngeri yaazo, nabuli kyewalula ku nsi mu ngeriyaakyo. Katonda n’alaba ngabirungi.

KATONDA YATONDA OMUNTUOlubereberye 1:26-31

26Katonda n’ayogera nti, “Tu-kole omuntu mu ngeri yaffe;bafugenga ebiri mu nnyanjan’ebibuuka waggulu n’enten’ensi yonna na buli kyewalulaku nsi.” 27Katonda n’atondaomuntu mu ngeri Ye; mu ngeri

ya Katonda mwe yabatonderaomukazi era n’omusajja. 28Ka-tonda n’abawa omukisa; Kato-nda n’abagamba nti “Mweyo-ngere mwalenga mujjuze ensimugirye; mufuge ebiri munnyanja n’ebibuuka wagguluna buli ekirina obulamu ekita-

61

mbula ku nsi.” 29Katonda n’a-yogera nti, “Laba mbawaddeomuddo gwonna ogubala ensi-go okuli ku nsi yonna, na bulimuti ogulimu ekibala ky’omutiogubala ensigo gunabeerangammere yammwe; 30n’eri bulinsolo ey’omu nsi, na buli eki-buuka mu bbanga na buli ekye-walula ku nsi; ekirimu omukkan’obulamu, mbiwadde omuddoomubisi okubeeranga emmereyaabyo.” Bwe kityo bwe kyali.31Katonda n’alaba buli ky’a-koze, era laba, nga birunginnyo. Ne buba akawungeezi, nebuba enkya, olwo lwe lunaku o-lw’omukaaga.

Olubereberye 2:77Mukama Katonda n’abumba

omuntu mu nfuufu y’ensi, n’a-mufuuwa mu nnyindo omukkaogw’obulamu; omuntu n’afuu-ka emmeeme ennamu.

Bye Tulina OkujjukiraOmuntu wa njawulo okuva ku bintu ebirala byonna ebira-

mu. Tetuli nga bisolo. Bayibuli etutegeeza mu 1 Abakkolinso15:39 amazima gano amakulu: “Emibiri gyonna si gyakika kimu, naye waliwo ebika nga eky’omubiri gw’o-muntu, omubiri omulala gwa nsolo, omulala gwa bye-nnyanja, n’ebirala binyonyi.” Omubiri gw’omuntu tegwa-wukana bwawukanyi kyokka ku bitonde ebirala naye eraomuntu yakolebwa nga emmeeme ennamu. Bwe tuzaalib-wa tulina gye tubeera. Abantu abakkiriza Mukama waffeYesu Kristo nga Omulokozi bagenda kubeera n’obulamuobutaggwaawo, naye abo abagaana okwetwalira Kristo mumitima gyabwe balibeera mu kulumwa okutakoma! Yokaana5:28 ne 29 agamba nti: “Kino kireme okubeewuunyisa;

Page 17: A bible study on matthew luganda

kubanga ekiseera kijja bonna abali mu ntaana lwe bali-wulira eddoboozi, ne bazuukira, abo abaakola obulungi,balizuukrira obulamu, n’abo abaakola obubi, balizuukiriraomusango.”

Fenna tugenda kuyimirira mu maaso g’entebe ya Kristoey’omusango. Abaebbulaniya 9:27 agamba nti; “Era nga bwekyateekerwawo omuntu okufa omulundi gumu, naye olu-vanyuma musango.” Abaruumi 14:10b-12 agamba nti;“Nga bwendi omulamu, bw’ayogera MUKAMA, Buli vviivilirinvunnamira era na buli lulimi lulinjatula eri Katonda;Kale buli omu ku ffe aliwaayo embalirira ye eri Katonda.”

Enyiriri ezo waggulu era zoongera okutulaga nga ffe tulibanjawulo ku bisolo. Kituufu nga ensolo nazo zifa ne ziddamu ttaka, naye Omubuulizi 3:21 alaga bulungi enjawulo eri-wo wakati w’omwoyo gw’omuntu n’omwoyo gw’ensolo. Aga-mba bw’ati: “Ani amanyi emyoyo gy’abaana b’abantu egi-genda waggulu, n’omwoyo gw’ensolo, ogukka wansi muttaka?” N’olwekyo, tulaba nga omwoyo gw’omuntu guddayoeri oli eyagugaba. Omubuulizi 12:7 atugamba nti: “Awo enfuu-fu n’edda mu ttaka mwe yava, n’omwoyo ne guddayo eriKatonda eyagugaba.”

Omuntu Yetaaga OmulokoziAbaruumi 3:23 — “Kubanga bonna baayonoona ne

batatuuka ku kitiibwa kya Katonda.”Abaruumi 5:12 — “N’olw’ekyo, ekibi nga bwe kyayita

mu muntu omu ne kiyingira mu nsi, ate n’okufa ne kuyi-ta mu kibi, bwe kityo okufa ne kubuna mu bantu bonna,kubanga bonna baayonoona.”

Yokaana 3:5b — “Omuntu bw’atazaalibwa mazzi naMwoyo, tayinza kuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.”

62 63

Katonda Atuteekerawo OmulokoziAbaruumi 5:6-11 — “Kubanga bwe twali nga tukyali

banafu, mu ntuuko za Kristo yafiirira abatatya Katonda.Kubanga kizibu omuntu okufiirira omutuukirivu yaddenga omuntu ayinza okuguma n’afiirira omulungi. NayeKatonda alaga okwagala kwe Ye gyetuli, kubanga bwetwali nga tukyalina ebibi Kristo yatufiirira. Kale okusingaennyo kaakano nga twaweebwa obutuukirivu bwe olw’o-musaayi gwe, tugenda kulokoka mu busungu ku bubwe.Kuba bwe twali nga tukyali balabe, twatabaganyizibwane Katonda olw’okufa kw’Omwana we, okusinga ennyomu kutabaganyizibwa okwo tulirokoka olw’obulamu bwe;so si ekyo kyokka, naye era nga twenyumiriza mu Ka-tonda kubwa Mukama waffe Yesu Kristo, gwe tuyitamukakano okuba nga tufuna okutabaganna.”

Yokaana 3:16 ne 17 — “Kubanga Katonda bwe yaya-gala ensi bw’atyo n’okuwaayo n’awaayo Omwana weeyazaalibwa omu yekka, buli amukkiriza aleme okubulanaye abeere n’obulamu obutagwaawo. Kubanga Kato-nda teyatuma Mwana we kusalira ensi omusango, nayeensi elokokere ku Ye.”

Tuteekwa Okukkiriza Kristo ne Tulyoka TulokokaYokaana 3:18 — “Oyo akkiriza mu Ye taliiko musango;

naye atamukkiriza gumaze okumusinga, kubanga takki-riza linnya lya Mwana wa Katonda eyazaalibwa omuyekka.”

Ebikolwa 16:31b — “Mukkirize Mukama waffe Yesu Kri-sto, munaalokolebwa, mmwe n’ab’ennyumba zammwe.”

Yokaana 5:24b — “Oyo awulira Ekigambo kyange n’a-kkiriza Oyo eyantuma alina obulamu obutagwaawo, eratalisalirwa musango, naye ayise mu kufa n’atuuka mubulamu.”

EBY’OKUKOLAWammanga awo jjuzamu mu mabanga buli w’olaba nga

oyinza okuddamu nti “YEE” nga tolimba. Ekigambo okiwa-ndiikewo nti “YEE.”

_______ 1. Mu kusoma bino ebiri mu katabo “SSANYU,”wawulidde nga Katonda ayogera n’omutima gwo?

_______ 2. Wandiyagadde okubeera omuntu wa Mukamawaffe Yesu Kristo n’okufuna OBULAMU OBUTAGGWAAWO?

_______ 3. Mazima ddala owulira nga ebibi byo bikunaku-waza oba ebikyamu byonna bye wakola? Mu mazima oya-gala okulekayo ebibi ebyo n’obutaddirayo ddala kubikola?

_______ 4. Wasaba eri Yesu nga omutegeeza nti weenenya?

_______ 5. Wasaba Yesu n’otuuka n’okuwulira nga ofunyeemirembe mu mutima gwo, era omanyi nga yawulira okusa-ba kwo n’akusonyiwa ebibi byo byonna? Jjukira nga Ye yas-uubiza nti Bwe twatula ebibi byaffe, Ye wa mazima eramwenkanya okutusonyiwa ebibi byaffe. (Soma 1 Yokaana1:9 ku lupapula 55 mu kitabo kino.)

_______ 6. Kaakano weesiga Kristo nga Omulokozi wo?

_______ 7. Nga oyambibwako Mukama, onoomugobererangaera nga bw’omusaba buli lunaku akuyambe otambulire mubulamu bw’asiima?

_______ 8. Onaakola kyonna ky’osobola okulaba nga oya-mba abalala nabo bazuule Yesu abeere Mulokozi wabwe?

Ebiddibwa mu BibuuzoEby’okuddamu byonna mu bibuuzo ebiri mu “Ssanyu” Matayo,

biri awo wammanga nga ojja kusobola okwekebera olabe obanga bye waddamu bituufu. Bino olina kubikebera nga omaze ku-ddamu bibuuzo byonna. Bw’oba nga wawubwa n’ogwamu bu-satu n’okukka wansi, olwo nga okoze bulungi nnyo.

Olupapula 22A.1. mugezi 2. musiru

Empapula 28, 29A.1. binyonyi

2. ttaka, ziwotoka, zikala3. amaggwa 4. ebimera

B.1. kigambo, kutegeerwa 2. kigambo, kwesittala3. gy’ensi eno, ekigambo,

abatalina bibala4. kibala ebibala

Empapula 37, 38 A.1. Tottanga

2. Toyendanga3. Tobbanga4. Towayirizanga5. Kitaawo ne nnyoko obawanga.6. Oyagalanga muliraanwa wo nga

bwe weeyagala wekka.B.1. Yee 4. Yee

2. Yee 5. Nedda3. Nedda 6. Nedda

Olupapula 41 A.1. bwereere

2. na maanyi 3. musibe4. Balunabba5. kukomererwa

Olupapula 42A.1. ekyambalo

2. amaggwa, omutwe3. Kabaka 4. okuwanda, olumuli

Olupapula 44A.1. Simooni (omusajja Omukuleene)

2. abanyazi3. Omwana wa Katonda

Olupapula 50A.1. ejjinja, omuzira 2. abafu

Olupapula 1, 2A. 1. Malyamu

2. Omwoyo Omutukuvu3. malayika4. Emmanweri5. Katonda ali naffe

Olupapula 5A. 1. Yee 4. Nedda

2. Yee 5. Yee3. Nedda 6. Yee

7. Yee B. Era bwe baatuuka mu nnyumba,

ne balaba omwana ne Malyamunnyina, ne bavunama ne bamusinza.Ne basumulula ensawo zaabwe nebamutonera ebirabo: zaabu, obubaane,n’omugavu.Olupapula 8

A. 1. Eggulu 2. enzige,

n’omubisi gw’enjuki ez’omu nsiko Empapula 10, 11

A. 1. amakumi ana2. omulabe (omukemi oba Setaani)3. omugaati 4. yekaalu 5. Ye

Olupapula 13A. 1. Andereya 3. Yokaana

2. omugonjo 4. obutimba Olupapula 16

A. Kitaffe ali mu ggulu, erinnya lyo litukuzi-bwe. Obwakabaka bwo bujje. By’oyagalabikolebwe mu nsi, nga bwe bikolebwa muggulu. Tuwe leero emmere yaffe eya bulijjo.Era otusonyiwe ebyonoono byaffe, nga bwetusonyiwa abatusobya. Totutwala mu kuke-mebwa naye otulokole eri omubi. Kubangaobwakabaka, n’obuyinza, n’ekitiibwa,bibyo, emirembe n’emirembe. Amiina.

64

3. Yesu4. jjuba5. Omwana

Page 18: A bible study on matthew luganda

KRISTO AKOMAWO NATE!

WEETEGEKE“N’olw’ekyo nammwe mweteeketeeke: kuba-nga mu kiseera kye mutasuubiriramu; Omwa-na w’Omuntu ky’ajjiramu.” —Matayo 24:44

1009/2 Luganda Matthewwww,wmpress.org

7-11