6
OKULAMAGA E KIGUNGU, ENTEBBE 17 February 2017 Gen. 11: 1-9; Acts 2: 42-47; Mk 8: 34-9:1 OKUYIGIRIZA KWA SSABASUMBA AUGUSTINE KASUJJA 1. Ku lunaku luno olw’ebyafaayo mu Eklezia Katolika wano mu Uganda, tuzze okulamaga ku kifo kino tujjukire Bajjajjaffe mu kukkiriza, abaatuleetera Eddiini ya Kristu, era ne batusigamu n‘ensigo ey’okukkiriza. Kati wayiseewo emyaka 138 bukya Fr. Simeon Lourdel (ayakazibwaako erya Mapeera) wamu ne Bro. Amans Delmas balinnya ekigere kyabwe ekisooka ku ttaka lya Uganda wano e Kigungu-Entebbe. Twebaza ba White Fathers na ddala abo abaasokera ddala okutuleetera Ekitangala kya Kristu, era tusale gonna tusimbe mu kisinde kya Bajjajjaffe abo kye batandikawo, ng’Abajulizi baffe bwe bakola. Eyagunjawo ekibiina kya ba White Fathers, Cardinal Lavigerie, bwe yasalawo okuweereza abayigiriza b’eddini mu kitundu kino ekya Afrika eyawakati, yasooka n’asindika bannaddini ng’ayagala bayite ku lukalu nga bava mu Algeria bakkirire nga bayita mu nsi ye Mali n’ensi endala eziddiriddewo. Kyokka abo bonna battibwa abatuuze b’omu mawanga gebayitangamu nga tebannaba nakugenda wala. Bw’atyo nasalawo okuweereza abalala bo bayite ku nnyanja ennene nga beetoloola Afrika ate oluvannyuma batuuke mu kitundu kino ekyaffe ekya Afrika. Mapeera eyali yakafuna obusaserdooti ng’akyali muto ddala wa myaka 24 egy’obukulu, nga ba kamugaba mu Parish ye embereberye e Metlili mu Ddungu Sahara kumpi n’ekibuga Gardaia, bwe yawulira nti bali banne abalala abaayita ku

OKULAMAGA E KIGUNGU, ENTEBBE 17 February … Augustin Kasujja...OKUYIGIRIZA KWA SSABASUMBA AUGUSTINE KASUJJA 1. ... buli mpewo efuuwa… Kino kye tukola olwa leero nga tulamaga wano

  • Upload
    buithu

  • View
    239

  • Download
    2

Embed Size (px)

Citation preview

Page 1: OKULAMAGA E KIGUNGU, ENTEBBE 17 February … Augustin Kasujja...OKUYIGIRIZA KWA SSABASUMBA AUGUSTINE KASUJJA 1. ... buli mpewo efuuwa… Kino kye tukola olwa leero nga tulamaga wano

OKULAMAGA E KIGUNGU, ENTEBBE 17 February 2017

Gen. 11: 1-9; Acts 2: 42-47; Mk 8: 34-9:1

OKUYIGIRIZA KWA SSABASUMBA AUGUSTINE KASUJJA

1. Ku lunaku luno olw’ebyafaayo mu Eklezia Katolika wano mu Uganda, tuzze okulamaga ku kifo kino tujjukire Bajjajjaffe mu kukkiriza, abaatuleetera Eddiini ya Kristu, era ne batusigamu n‘ensigo ey’okukkiriza. Kati wayiseewo emyaka 138 bukya Fr. Simeon Lourdel (ayakazibwaako erya Mapeera) wamu ne Bro. Amans Delmas balinnya ekigere kyabwe ekisooka ku ttaka lya Uganda wano e Kigungu-Entebbe. Twebaza ba White Fathers na ddala abo abaasokera ddala okutuleetera Ekitangala kya Kristu, era tusale gonna tusimbe mu kisinde kya Bajjajjaffe abo kye batandikawo, ng’Abajulizi baffe bwe bakola. Eyagunjawo ekibiina kya ba White Fathers, Cardinal Lavigerie, bwe yasalawo okuweereza abayigiriza b’eddini mu kitundu kino ekya Afrika eyawakati, yasooka n’asindika bannaddini ng’ayagala bayite ku lukalu nga bava mu Algeria bakkirire nga bayita mu nsi ye Mali n’ensi endala eziddiriddewo. Kyokka abo bonna battibwa abatuuze b’omu mawanga

gebayitangamu nga tebannaba nakugenda wala. Bw’atyo nasalawo okuweereza abalala bo bayite ku nnyanja ennene nga beetoloola Afrika ate oluvannyuma batuuke mu kitundu kino ekyaffe ekya Afrika. Mapeera eyali yakafuna obusaserdooti ng’akyali muto ddala wa myaka 24 egy’obukulu,

nga ba kamugaba mu Parish ye embereberye e Metlili mu Ddungu Sahara kumpi n’ekibuga Gardaia, bwe yawulira nti bali banne abalala abaayita ku

Page 2: OKULAMAGA E KIGUNGU, ENTEBBE 17 February … Augustin Kasujja...OKUYIGIRIZA KWA SSABASUMBA AUGUSTINE KASUJJA 1. ... buli mpewo efuuwa… Kino kye tukola olwa leero nga tulamaga wano

2

lukalu babasse, neyeewaayo agattibwe ku kibinja kya bannaddiini eky’okubiri abanayigiriza mu kitundu kino ekya Afrika. Bwe baamala okubasiibula n’okubawa omukisa mu Eklezia ya Bikira Maria owa Afrika (Notre Dame d’Afrique, Our Lady of Africa) mu Algiers, kwe kukwata eryato nga lisooka okwekonako e Marseille mu France mu mwezi gwa April 1878,

ate oluvannyuma ne beyogerayo nga bayita mu Suez Canal mu Egypt okutuusa lwe baatuuka ku lubalama e Bagamoyo mu Tanzania

oluvannyuma lw’omwezi mulamba nga bali ku mazzi mu nnyanja. Okuva e Bagamoyo baatambuza bigere okutuuka e Mwanza ku nnyanja

Victoria. Olwo olugendo lwabatwalira emyezi ng’ena nga bawerekerwako abatembeyi ababasitulirangako ebintu byabwe. Awo e Mwanza kwe kurondamu Fr. Mapeera ne Brother Amans Delmas basooke okujja mu Uganda basabe olusa ewa Kabaka abakkirize okujja wano bayigirize eddiini. (Bannadddini abalala abasatu bo baasigala balinda e Mwanza). Wano e Kigungu Fr. Mapeera ne Bro. Amans Delmas baatuukawo nga 17 February 1879 ng’olwo batambulidde kumpi emyezi nga kkumi okuva lwe baasimbula e Marseille (France). Olugendo olwo lwalimu ebisoomoza bingi. Kyokka ye Omukama bano yabakuuma. Bannaabwe 8 mulamba bo bafiira mu kkubo olwa malaria ate Brother omu (Br. Marx) ye yattibwa buttibwa nga bayita mu kyalo ekimu. “Mwebale Amans ne Mapeera….”. 2. Amasomo ge tuva okuwuliriza kaakati gatuwadde omulamwa gw’okulamaga kwaffe kuno okw’omwaka guno ng’Essaza ekkulu ery’e Kampala lijaguza emyaka ataano bukya litondebwawo. “Tujjukire”,

Page 3: OKULAMAGA E KIGUNGU, ENTEBBE 17 February … Augustin Kasujja...OKUYIGIRIZA KWA SSABASUMBA AUGUSTINE KASUJJA 1. ... buli mpewo efuuwa… Kino kye tukola olwa leero nga tulamaga wano

3

“Tujaguze nga twebaza” ate “Twezze buggya” (Remember, Rejoice with gratitude, Renew).

Ekitabo ky’Amasooka (Genesis) ekinnyonnyola nga Katonda bwe yatonda ensi n’omuntu, kitugambye nti okusookera ddala ensi yonna yalina olulimi lumu n’ebigambo nga bye bimu. Naye olumu, ng’omujjuzi ogwazikiriza ebibuga Sodoma ne Gomorra ebyakola ebivve gumaze okuyita, abantu abamu ne

bagamba nti: Abange, mujje twezimbire ekibuga n’omunaala entikko yaagwo ng’ekwata ku ggulu, twekolere erinnya… Bwe batyo kwe kwezimbira omunaala, bakole erinnya, ebibuga ebirala bibatye, era nga balowooza nti balisobola batyo okwetuukira ewa Katonda mu ggulu nga bayita mu munaala gwe bezimbidde bokka na bokka ne mikono gyabwe. Kyokka Omukama n’asalawo abatabuletabule ennimi, buli omu eleme kutegeera lulimi lwa munne, ate era n’abasaasaanya mu nsi yonna. Okuva olwo ne balekera awo okuzimba, nga gwe basaba okuleeta ettaffaali oba omusenyu aleetamu kintu kirala. Ekibuga ekyo n’omunaala kye baava bakiyta Babeli, kubanga baatabuka ennimi nga buli omu takyategeera munne ky’ayagala. Ekitabo Ekitukuvu kitugamba nti “Singa Omukama siyazimba ennyumba, abazimbi batawaanira bwerere…” (If God does not build the house, in vain labour the constructors).

Mu nnaku zino, ebyo ebyaliwo ku mulembe guli kati ebimu tubirabako, nga bangi bajja baagala okwekolera erinnya, babatende, nga tebakyawuliriza balala bonna, abamu beekolera n’Eklezia zaabwe… “Singa Omukama siyazimbye ennyumba abazimbi batawaanira bwerere…” Nga tujjukira wano bajjajjaffe Mapeera ne Amans abaatuletera Ekitangaala kya Kristu, tuleme kugwa mu kikemo kya kwenoonyeza byaffe oba

Page 4: OKULAMAGA E KIGUNGU, ENTEBBE 17 February … Augustin Kasujja...OKUYIGIRIZA KWA SSABASUMBA AUGUSTINE KASUJJA 1. ... buli mpewo efuuwa… Kino kye tukola olwa leero nga tulamaga wano

4

n’okunoonya ebitiibwa ebiyita obuyisi, abantu batuyite eb’ekitalo. Eyetowaza, aligulumirizibwa; naye eyegulumiza alitowazibwa. Ndowooza waliwo abakyajjukira ekyaliwo e Kanungu wano mu Kigezi, omusajja eyali omusaserdoti bwe yabuvaamu nalangirira nti atandiseewo Klezia eyiye ate n’agamba n’abagoberezi be nti ensi yali ejja kuggwawo mu mwaka gw’enkumi ebbiri (2000). Bwe yalaba ng’ekyo tekituukiridde kwe kuteekera omuliro ku klezia ye abakristu be bonna ne bafiiramu. Naguno gugwa tewali amanyi wa gye yalaga oba gye yafiira. Ob’oluganda, tuleme kwerabiranga! Let us remember (let us keep good memory of our past) then we shall know how to interpret whatever comes. Paulo Omutuukirivu ye atugamba nti tuleme kuyuugayuuga nga tugoberera buli mpewo efuuwa… Kino kye tukola olwa leero nga tulamaga wano e Kigungu kitujjukizenga nti ku nsi kuno bulijjo ffenna tuli balamazi, si ba lunaku lumu naye okutuusa lwe tuulituuka mu Bwakabaka obw’omuggulu. 3. Essomo ery’okubiri erivudde mu Bikolwa by’Abatume litugambye nti tulabire ku Batume n’empisa z’abakristu abasookera ddala, engeri gye

bayisanga: Bo banyiikiriranga

enjigiriza z’abatume n’okussa ekimu… Bonna abakkiriza baabanga wamu… Bagulumizanga Katonda (wabula si bantu buntu), era ng’abantu bonna babaagala. Kino kitulaga nti twezze buggya mu kukkiriza nga tugoberera

bajjajjaffe mu kukkiriza engeri gye bayisaamu. Okwagalana n’okwagala Katonda kye kifundikwa ky’okutuukiriza amateeka ga Katonda. Abatume beyisanga batya? Bwe tusoma mu mutwe ogusooka ogw’Evanjiri ya Yoanna tuwulira nti abatume ababiri abasookera ddala okugoberera Yezu, Andrea ne Yoanna,

Page 5: OKULAMAGA E KIGUNGU, ENTEBBE 17 February … Augustin Kasujja...OKUYIGIRIZA KWA SSABASUMBA AUGUSTINE KASUJJA 1. ... buli mpewo efuuwa… Kino kye tukola olwa leero nga tulamaga wano

5

basooka kubeera bagoberezi ba Yoanna Batista. Ono Yoanna Batista bwe yali abatiza mu mugga Yordani kwe kulengera nga Yezu ajja. N’agamba abagoberezi be abo nti Wuuyo akaliga ka Katonda akajjawo ebibi by’ensi. Andrea ne munne Yoanna olwawulira ekyo kwe kuva ku Yoanna

Batista ne batandika okugoberera Yezu. Yezu bwe yatunula emabega ng’alaba bamugoberera n’ababuuza nti abange, munoonyaa ki? Bo ne baddamu nga bamubuuza nti Muyigiriza, obeera wa? (Master, where do you live?). Yezu kwe kubagamba nti mujje mulabe. Olwo kwe kumugoberera; era Evanjiri etugamba nti baasigala naye olunaku olwo lwonna. Tumanyi bulungi nti bwe baagenda okulaba Yezu gy’asula tebasangayo kirala kyonna kibasikiriza; tewaali lubiri oba nnyumba etiisa ey’ekitiibwa. Kuba tumanyi nti Yezu yazaalibwa mu kisibo kya nte; ate bwe yatambulanga mu byalo ng’asula mu mikwaano gye nga Lazaro, Maria ne Martha, oba ewa Petero. Ate era naye yennyini agamba nti “omwana w’omuntu talina wassa mutwe”. Kyokka bwe bavaayo nga Andrea agamba muganda we Simoni Petero nti jjangu tuzudde Messiah (Omununuzi) gy’abeera. Ab’oluganda bwe tugenda okulamaga mu bifo ebimu nga kino, kiki kye tunoonya? Tunoonya Mununuzi (Messiah) oyo aggyawo ebibi byensi, oba twenonyezaayo byaffe byokka, ate ne tusigala ng’ekibi tetukivuddeemu? Ng’okulimba, okubba, okuwanpanyawampanya, obukyaayi, n’ebirala… N’olwaleero Omukama atubuuza nti Mwe abazze okulamaga munoonyaaki?

4. Mu Vanjiri gye tuva okuwuliriza olwaleero, evudde mu Mariko, Omutwe ogw’omunaana, Yezu Kristu atugambye bw’atyi: Oba ng’oli ayagala okungoberera, yeerese byonna, yeetikke

Page 6: OKULAMAGA E KIGUNGU, ENTEBBE 17 February … Augustin Kasujja...OKUYIGIRIZA KWA SSABASUMBA AUGUSTINE KASUJJA 1. ... buli mpewo efuuwa… Kino kye tukola olwa leero nga tulamaga wano

6

omusaalaba gwe, angoberere. Kubanga buli alyagala okuwonya obuwonya obulamu bwe obw’omubiri nga tafuddeeyo kuwonnya mwoyo gwe, na kuva mu nsobi n’ebibi, aligubuza. Naye buli alibuza obulamu bwe okubeera nze n’okubeera Evanjiri, alibuwonya. Kyokka era Yezu ayongerako n’agamba nti Mazima mbagamba nti waliwo abamu ku bayimiridde wano abatalirega ku lumbe okutuusa nga balabye obwakabaka bwa Katonda nga bujja n’amaanyi. Ekyo kitegeeza nti Omukama kyatayagadde tekiyinza kugwaawo. Ob’oluganda, tweddemu tunoonye Obwakabaka bwa Katonda, n’ebirala byonna tulibifuna Omukama bw’aliraba nga tubyetaaga. Mujje tusimbe mu kisinde ky’abajjajjaffe mu kukkiriza! Omukama abeere nammwe. (“Mmwe ab’ekitiibwa, mubugaanye essanyu mwesimye...”)